Yesu nzize nzize nga nkunoonya
Nayagadde okumanya
Ddala muntu ki ono abange?
Buli budde abeerawo
Era n’ansumulula enjegere
Mu bulwadde abeerawo
Yesu n’andaga obuyinza
Balabe bange be simanyi
Yesu n’abalwanyisa ekigambo
Oh Kitange nkunoonya
Lwaki onjagalira mu biseera ebizibu? x 2
Kitange onodda wa ebibuuzo?
Kuba kino kinsukkiridde
Bingi bye nkusobezza ha
Naye Yesu tongobangako
Ne bwe mba nkunyiizizza Kitange
Era tonva ku lusegere
Waliwo lwe gyandeka emikwano
Mu kaseera akazibu
Nga ne kye ndya mpammanta kiwammante
Ne lwe zibuze nga neekubagiza nzekka
Nga ne we nsula enkuba olutonnya
Ne tuyoola amazzi
Enkuba olutonnya aah
Ne tuwanika ebintu
Kitange gye wanzigya ha
Nti jangu eno mwana wange
Yesu nkubuuza nze ani gw’ofuula omwana wo?
Nze njagadde nkunoonye
Lwaki onjagalira mu biseera ebizibu?
Yesu oliwa?
Yesu nzize nzize nga nkunoonya
Nayagadde okumanya
Ddala muntu ki ono abange?
Buli budde abeerawo
Era n’ansumulula enjegere
Mu bulwadde abeerawo
Yesu n’andaga obuyinza
Balabe bange be simanyi
Yesu n’abalwanyisa ekigambo
Oh Kitange nkunoonya
Lwaki onjagalira mu biseera ebizibu?
Manyi nti ojjukira lwe nalwala
Ne nkoma e magombe
Essuubi lyanzigwamu nange
Ne ndowooza ŋenda
Hmmm mba ndi awo n’ompita
Nti jangu nkuwummuze
Obulumi busuule jangu nkutikkule
Kitange n’oŋŋumye yadde nga nze nali nkunyooma!
Bambi n’onzikakkanya
Era n’ontikkula obuzito
Ntambula nnyo amatumbi budde eyo
Naye Yesu obeerawo, aah ah
Ssikusasula yadde n’omusaala
Naye ate onkuuma
Ne bwe biba biteega by’e Burundi Kitange onwanira
N’olunaku nga lwannemye okuyiiya
Gwe Kitange ozannyawo
Oh Yesu nkunoonya
Lwaki onjagalira mu biseera ebizibu?
Nze njagadde nkunoonye
Nkuwe n’obulamu bwange lubeerera
Yesu nzize nzize nga nkunoonya
(Nzize nkunoonya)
Nayagadde okumanya
(Yesu nzize nkuyigga)
Ddala muntu ki ono abange?
Buli budde abeerawo
Era n’ansumulula enjegere
(Yesu n’ansumulula enjegere)
Mu bulwadde abeerawo
Yesu n’andaga obuyinza
(Era n’andaga obuyinza)
Balabe bange be simanyi
Yesu n’abalwanyisa ekigambo
(Yesu n’abalwanyisa ekigambo)
Oh Kitange nkunoonya
Lwaki onjagalira mu biseera ebizibu?
(nze nzize nkunoonya) x 2