Mbiwulira, gye mpita
Mpulira boogeranga bingi mu nkuubo
Mbiwulira nange gye mpita
Topowa balabe ng’abali mu muzannyo
Yantuma okuluŋŋamya ndiga ezinoonya ekkubo
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
N’antuma, eri abazitoowereddwa mbatikkule
Basabire essaala bajja tereera
Yantuma okuluŋŋamya ndiga ezinoonya ekkubo
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
N’antuma, eri abazitoowereddwa mbatikkule
Basabire essaala bajja tereera
Nabbi neebaza Mukama eyantuma anfudde kyendi
Kati laba, eby’amagero ebingi bye nkola
By’ebimpisa omusambwa
Naye embuyaga efuuwa ayimiridde eeh yeah
Atudde eba emulanga ki Margie waabwe!
Nze sirikoowa ddogo kulizzaayo, ntaenda mbele
Hmmm bingi bye tuyitamu eyo gye tuyita
Gw’olaga ekitangaala akulaga kizikiza
Ne Mukama kye yagereka tebakikwagaliza
Sso ng’ate Mukama ayagala abakkiriza
Okusabira omugumba n’azaala ago maanyi ge
Okuzzaayo eddogo gye liva ezo ssaala ze
Okkugabira obugagga n’oba loodi maanyi ge
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
Yantuma okuluŋŋamya ndiga ezinoonya ekkubo
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
N’antuma, eri abazitoowereddwa mbatikkule
Basabire essaala bajja tereera
Yantuma okuluŋŋamya ndiga ezinoonya ekkubo
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
N’antuma, eri abazitoowereddwa mbatikkule
Basabire essaala bajja tereera
Wano nga sinnaba kufuuka nsonga
Tewali yali anjogerako
Kati bandaba nninnye eddaala
Bangeya nze bannemeddeko
Nze ssirikoowa ssirijeemera Mukama
Okukola emirimu gye
Nze sirikoowa ddogo kulizzaayo, ntaenda mbele
Wulira bino, abandisiimye by’okola
Kati be boogera ebingi
Bakyuse ne langi obusungu balina bungi
Be nnyambye bangi ne mbakolera ebirungi
Amagoba ge nafuna ate kunjogereranga
Nzijukira nange banjogereranga
Nti ŋŋenda mu nnyanja ebirungi gye mbijja
Nebatamanya ziva mu ntuuyo
Kola gwe yakutuma nga Nabbi
Mbiwulira, gye mpita
Mpulira boogeranga bingi mu nkuubo
Mbiwulira nange gye mpita
Topowa balabe ng’abali mu muzannyo
Yantuma okuluŋŋamya ndiga ezinoonya ekkubo
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
N’antuma, eri abazitoowereddwa mbatikkule
Basabire essaala bajja tereera
Yantuma okuluŋŋamya ndiga ezinoonya ekkubo
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
N’antuma, eri abazitoowereddwa mbatikkule
Basabire essaala bajja tereera
Yiii mbu Nabbi Omukazi musambwa
Pasita Yiga gwe yaggya mu nnyanja!
Ne Yesu yatambuliranga ku mazzi
Naye kyamuyisa omusambwa
Lwaki buli ekiyitibwa eky’amagero tukiwa sitaani?
Wadde aboogera boogera naye ekyewuunyisa
Mukama asigala akola!
Okusabira omugumba n’azaala ago maanyi ge
Okuzzaayo eddogo gye liva ezo ssaala ze
Okkugabira obugagga n’oba loodi maanyi ge
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
Omwana akonzibye, baamuleese n’awona
Mukama asigala akola!
Waliyo omugumba jjuuzi yafunye omwana
Mukama asigala akola!
Eyali omwavu, yafunye ssente
Mukama asigala akola!
Aboogera boogere
Nze kankole Mukama bye yantuma, ssiri kw’abo
Yantuma okuluŋŋamya ndiga ezinoonya ekkubo
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
N’antuma, eri abazitoowereddwa mbatikkule
Basabire essaala bajja tereera
Yantuma okuluŋŋamya ndiga ezinoonya ekkubo
Maanyi ga Mukama Nabbi bayambe
N’antuma, eri abazitoowereddwa mbatikkule
Basabire essaala bajja tereera
Repeat chorus to end