Y’ani Lyrics – Julie Muteesaasira & Iryn Namubiru

Both
Ooh ooh
Y’ani?
Y’ani?
Y’ani?
Oyo ajja gy’ali, gw’awambaatira

Iryn
Aah, mbuulira
Ebintu mw’oyise eyo gy’obadde
Nnyumizaako, ku bingi by’olabye

Julie
Waliwo omusajja gwe manyi
Eyeegomba omuwala
Nga sso omuwala tamulinako bambi
N’aguma abeere mu laavu ey’omu
Ng’omusajja mulungi
Nga n’empisa alina
Ng’omuwala mubi nnyo ate
Ng’empisa ze nazo era bwezityo
Ogambye ki?
Nga buli kirungi kya mukolera
Omuwala amusasula bibi
Omusajja yatuuka n’okufa
Naye ng’olukwe kwe luva era muwala
Bwe yali ng’afa bambi
Yadde yali mu bulumi (uuh)
Omuwala teyeetonda
Naye era yamusonyiwa (hmmm)

Both
Ng’omuwala mubuyabuya!
Musajja ki oyo gwe yayiwa?
Bamuyita Yesu
Omusajja oyo laavu ye teri nga ya bano
Ogambye yatuuka n’okufa bambi
Kiki kale teyamuleka n’awonya obulamu bwe?
Bamuyita Yesu (oh Yesu)
Omusajja oyo laavu ye teri nga ya bano
(Oh Yesu)

Iryn
Neewunyizza ky’oŋambye
Neewunyizza omusajja (omusajja oyo)
Eyatuuka okufa bambi olw’okuba omuwala
Kubanga abalala balungi naye
Abasinga obulungi bwabwe buba ku ngulu
Nze nkyerabiddeko nange
Abantu tebalwa kukyuuka balinga nawolovu
Wano bambala zaabu batemagane
Nga keebisse buka munda mulimu butwa
Abafalisaayo abo ebintu bye bakweka
Mu ngoye, ssi bituufu
Gw’ogambye oyo yakula atya?
Ne nfuna ng’oyo mbeera maze
Abasajja abalungi ng’ate beesigwa, tebasangika
Y’ani Julie mbuulira
Njagala nange ndabe kw’oyo

Both
Bamuyita Yesu
Omusajja oyo laavu ye teri nga ya bano
Omusajja oyo gw’onyumya (gw’onyumya)
Njagala nange musembeze (musembeze)
Bamuyita Yesu (Y’ani)
Omusajja oyo laavu ye teri nga ya bano

Julie
Yeffe bawala
Yesu be yafiirira
Yaleka ebitiibwa bye n’akka ku nsi abe naffe
Olw’omukwano gwe omungi ogutagooka
Na kati waali atulinze, tumusembeze

Julie
Njagala, oneetegereze naawe
Maze ebbanga nga sigenda mu kkanisa
Aba afunira wa?
Okwagala nga nze, omuwala omudongo?

Both
Waali ajja gy’ali, gw’awambaatira (tumusembeze)
Ebibi byange bingi (tofaayo)
Nange oluusi binkanga (jangu nga bw’oli)
Waali ajja gy’ali, gw’awambaatira (tumusembeze)
Kale nno twanguwe (twanguwe)
Tugende tumusisinkane (tumusisinkane)
Waali ajja gy’ali, gw’awambaatira (tumusembeze)
Twanguwe, tudduke Iryn
Tugende gy’ali
Waali ajja gy’ali, gw’awambaatira (tumusembeze)
Ooh oh uuh ooh oh, Yesu
Yesu, tuzze, tuzze
Waali ajja gy’ali, gw’awambaatira (tumusembeze)
Oh, tudduke, twanguwe, tumusisinkane
Eh eh eh eh eh eh
Waali ajja gy’ali, gw’awambaatira (tumusembeze)

Submit Corrections