Obuyimba bw’omukwano
Bwe wayimbanga
Karl Famous
Radio
Eli Arkhis Music
Wabula Radio Radio Radio
Wabula Radio Radio
Mukama akwongere empeera
Mungu akuwummuze mirembe
Maama maama Radio
Obuyimba obulungi bwe wayimbanga
Nga ŋamba baakuteekamu ki?
Okuyiiya obuyimba bw’omukwano
Obujjanjaba emitima
Obujudde amapenzi
Eri abaagalana
Wadde gy’olaze wala
Tetulinaayo muyiiya akwenkana
Era bwe tudda mu ndago
Teriiyo alikusangula
Kati ffe tukwasa Lugaba
Ab’emikwano tugume
Tulikusangayo, Radio hmmm
Wabula Radio Radio Radio
Wabula Radio Radio
Mukama akwongere empeera
Mungu akuwummuze mirembe
Maama maama Radio
Wali musomesa w’eggwanga ebirungi n’okola
Ng’okiikirira eggwanga mu mawanga gy’oyita
Obuyimba obwo ng’obuwoomesa
Nga ne ba fan otugattika
Abaali mu butabanguko
Nga n’entalo oziwangula
Entiisa yatutuukako
Ng’obudde bwa kinyegenya
Ne mbuguutana ngoowoluganda yatuvuddeko
Ebyaddala abaaliwo ffenna twalumwa
Abooluganda baanyolwa
N’abemikwano twasobwa
Hmmm, yiii twasobwa
Wabula Radio Radio Radio
Wabula Radio Radio
Mukama akwongere empeera
Mungu akuwummuze mirembe
Maama maama Radio
Obuyimba obulungi bwe wayimbanga
Nga ŋamba baakuteekamu ki?
Okuyiiya obuyimba bw’omukwano
Obujjanjaba emitima
Obujudde amapenzi
Eri abaagalana, hmmm
Wadde gy’olaze wala
Tetulinaayo muyiiya akwenkana
Era bwe tudda mu ndago
Teriiyo alikusangula
Kati ffe tukwasa Lugaba
Ab’emikwano tugume
Tulikusangayo, Radio hmmm
Wabula Radio Radio Radio
Wabula Radio Radio
Mukama akwongere empeera
Mungu akuwummuze mirembe
Maama maama Radio x 2
Spotlyte Music Africa
We takin’ over
We takin’ over