Omutembeeyi lumu Jenipher olimuyitako mu Porsche
(Abaali baseka they will see you rise)
Ng’akuba bbulooka ku Javas gy’olya lunch
(Abaali bavuma they’ll see you shine)

Winner yeah eh eh winner
(Munywanyi kola na maanyi osobola okuwangula)
Winner yeah eh eh winner
Kola na maanyi buli ky’okola eyo winner
(Ezo ze bayita embi osobola okuzivuga)
Toba nnyo gwe you’ll be a winner, winner
Winner yeah eh eh winner
(Osobola okubeera champion)
Winner yeah eh eh winner
Kola na maanyi buli ky’okola eyo winner
(Omukubi w’ebikonde)
Toba nnyo gwe you’ll be a winner, winner
(Omusambi w’omupiira)

Munywanyi wasoma naye ate akalimu kaafuuka akalimu
Sole yaggwa ku ngatto anti otunzeeko buli wamu
Topowa ogenda kugufuna wegombese buli omu
Okaabye amaziga mu kiwanga ganaatera okuggwaamu
Anti nga Cristiano Ronaldo ebizibu biri ku foomu
Emmaali yo mu Owino omuliro gw’agyookya n’eggwaamu
Ne weewola loan blood osobole okugizzaamu
N’obasuubiza mwattu nti n’amagoba ojja kussaamu
Oba wakazzaamu Council mu city n’ekugobamu
Kyokka loan wasinga nju nayo ne bakugobamu
Emikwano gyakulekulira mu nsi n’osigalamu bw’omu
Ne maama w’abaana yali slay queen naye n’akivaamu
(Nze laavu tesiba nviiri ate tengulira na nkoko)
Maama haa!
Ono baby nduunya

Ogenda kubeera champion for life
Awo Silver Kyagulanyi agambirawo obuwanguzi obututte
Diggy Baur oli muwanguzi
Bobi Wine
Victor Kamenyo

Wulira
Wamma omutembeeyi wange topowa gundi fata jaani
Student taama
Fiira ku pen
Abakuuma eddembe ba blood munyweeze gun
Owa Booda akujerega, goba shaitwani
Ow’edduuka muganda wange kanya minzaani
Asiika chapatti nkulaba ng’omugagga Madhivani
Anoonya omulimu guli awo ku coming soon
Up next, coming soon

Eh mwami kikomando nkimanyi ombeereddewo
Naye kati essaawa etuuse oneerabire ne gye wandaba
Kitwale nti bwe mba mukazi mba mmaze onnoba

Okay
Aaah ky’olina kyonna kikumala okufuuka winner mu nsi
Museveni yakwata mmundu byali bya force
Dawudi yakwata kayinja okukuba Goliyaasi
Desire kyaali kitone kye ky’ekyamukubira paasi
Tamale Mirundi mu kwasama mwe yafunira chance
Usain Bolt ye yakozesa magulu na gaasi
Micheal Jackson nga yatukakasa Break dance
Nelson Mandela ye yewaayo kulwanirira peace
Jesus Christ bulamu bwe yawaayo ku cross
Gwaali muggo buggo ogwataasa Moses
Cristiano ye yali kafulu mu kucanga akapiisi
Bobi Wine ye yewaayo ku lw’omuntu wa wansi
Nange Victor Kamenyo ku rap ezirimu sense
Yoooo

Munywanyi diguli tugenda kuzeetikka
Nkukakasa enjegere zaakukutuka
Enkoko bagenda kutulaba nga tuzisika
Abawala emitima gigenda kwabika
Emirimu mu guno gya kufunika
Embaga zigenda kutuuka
Yooo

Submit Corrections

0 thoughts on “Winner Lyrics – Victor Kamenyo”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *