Attention!
Well this is Champion Semagambo
A King Himself
General Field Marshall
A present of Lugaflow
Hip hop,
Hip hop music
Yes I reply this on my own risk
A Kaysam Production
Fake rapper rest in peace
Bomboclat
Make dem fear

Mbeera nnyingira bo babeera bafuluma
Mbeera mmira, bo babeera basesema
Nyambala bya bbeeyi ky’ova olaba bboyi nnyuma
Embuzi ezikutudde nze azirya empologoma
Lwaki mussa emisinde gy’omulamu ku gy’omulema?
Mu rap nnina diguli bano misomo gyalema
Mpunya zi perfume kazambi gwe bacuuma
Nalungiwa face ezaabwe bali mu kuzeevuma

Ayagala battle nkubuuza, who is you?
Ayagala battle nkubuuza, who is you?

Nnuma nga linnyo mu budde bw’empewo
Katonda yampa, mba ne ssente mu nsawo
Nkola by’amagero, badda mu kusinza mpewo
Babesunga batta, bansabira baawo
Wamma Kaysam eŋŋoma gikwatemu nga nsawo
Gwe ayingidde, oluggi ggalawo
Eno battle ya bigambo mu hip hop game
Bw’oba onyiize, ng’owulira nkuvumamu
Fuluma akazannyo lugaflow muveemu
N’ayagala olwana, ng’owulira onneewuliramu
Jangu onsange e Kasubi, bboyi twekubemu
Ŋŋamba bano ba ddiikuula, ng’ayimba kyekimu
Kambasomere, nga bwe mbagabira n’emirimu

Gwe atasobola kwewandiikira yadde line emu
Mu rap game mbuuza kati ki ky’okolamu?
Ssente nga bw’ozikola mu music bw’ozizzaamu
Kuba teri ayinza kuzannya nga tomukwasizzaamu
Oku rapping-a ssi kuleekaana tukuba ndusu
Ŋŋamba lino ezzike, eryaddugala ng’omusu
Oli mubi nnyo, wetaaga ba mu zoo
Mu Baganda abeddira enkima be basinga okwagala
Kuba obafaananira, omuziro gwe beddira
Olwa colour yo kankufunire omulimu gw’oba okola
Genda mu Kiwi ng’obulango gwe abubakolera

Hahaa, who is you?
Ayagala battle nkubuuza, who is you?
Hahaa, who is you?
Ayagala battle nkubuuza, who is you?

Nsaasira n’abesoma nti baakuwandiikira
Ng’ono Small P***y ayogera ebitaliiyo
Onyumya biki ng’ezizo z’okuba tezikwatayo?
Mbu real or no real nkubuuza oli real?
Back off nigga, gwe musiru asingayo
Gwe Feffe Bikuusikuusi kankuyite mbuzi
Oli kisembo? Yes yes
Olemerako? No no
Oli mugwaagwa? Yes yes
Otegeera? No no
Eyo gy’otuulira ku zi Boda
N’enkuba n’ekuba
N’otandika n’okucuuma bi dread byotanaaba
Kirabika enjaga bboyi ekutuuse ku bibumba
Okyasula na mu nju ya nnyoko
Feffe wasemba
Oli yala
Oli ffala
Osiibirira ttaaba
Kirabika nkuvumye nnyo, bambi tokaaba
Oli Small Weight
Wessa ku Heavyweight
Broke nigga ozalawa abalina cash mu wallet
Bwebanakukyawa onaggyawa ezigula emiti?
Funa omudaala gw’akakoola
Otunde n’enjaga

Hahaa, who is you?
Ayagala battle nkubuuza, who is you?

Lugaflow lufula mu ba ffala yeggwe akulembera
Gwe okujoboja mutaayi kw’oyita okuwandula?
Oyimba ng’empewo gwe zirinnye kale nkusaasira
Owuliriza ennyimbazo kyetaaga mmira ddagala
Wali olowooza style yo bboyi ya kuwangaala?
Ng’ani gw’omiza panadol, ow’olutakera?
Otambula oyawula oba biki ebyo bye walwala?
Gwe sijja na kulwako tomalira biseera

Ate ono alimu olu domestic animal
Akaaba nga nte bw’atandika okuyimba
Gwe Dikita Kamen yatula ebigambo by’oyimba
Lwaki orappinga, ng’eyakyuka oluba?
Kale kiswaza mbuno naawe hip hop gwokuba!
Osaana ku mwalo bboyi, nga mukene gw’ovuba
By’oyimba bifaanagana, oyimba kyekimu
Buli kayimba k’okuba, tokyuusa rhyme
Osembyayo ‘la’, mu mutwegwo y’erimu?
Gwe ampakanya genda omugambe bboyi akuyimbiremu
Gwe eyamanyi ng’oli kafulu, jangu tweyabye
Mu battle y’ekigambo n’ebigambo bboyi nkwaabye
In God I trust check my profile pic

Submit Corrections

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *