Obuveera babuggyewo (yiiyi!)
Tukozese paper ga-, paper ba-, paper gaapa (kale)
N’abekidandali baveewo
Tusigaze ba rapper aba namaddala (awo no)
What you gonna do? (hee)
Twabadde twebase
Twazuukuse (eh)
Mwe mwabireese
(Twazuukuse, mwe mwabireese)

Gwe Feffe yitawo wano weepime
Woowe akalimi kasigadde mu zero zero
Kibi nnyo musajja tozitowa yadde kilo (woowe)
Ki ekikutwala n’emmanju mbu olinamu embiro?
Ekisigalidde ebyenda by’ojja okulekayo (nkubuulira)
Anyway nze sitidde composition
Njagala ba rapper tubawe zi position
Kuba akazannyo bakajjuza corruption
Bwekuba kuzaalisa be bakola zi abortion
Nzize nga musawo okkola immunization

Gravity put you’re a*s down
Mpulira weeyita Kabaka who gave you the crown? (ani)
Tuula tuwaye ebitabo tubibikkule
Kituufu mu hip hop tolinaayo kateebe
Oba dda mu za Kafeero ndaba oli fan (walumbe zaaya)
Tukuzze mu bazungu oluzungu nalwo lwakugwa kkono
Bajja kusaba hey please, can you send me some *** oyitabe
Otandike okenenuka endusu ng’ekibe

Albino nkuvuddeko Santana sembera (jangu) wano
Ebibuuzo bingi nnyo nnyanukula bino
Lwaki ojjanga mu rap zaffe n’ozizannyiramu?
Gwe atwogezaako obubi oziwemuliramu
Oli puliida kki tosigala mu court room
N’owolereza ababbi b’enkoko
Ekkomera baagala kulivaamu (bambi)

Kati gwe kakkana wansi mpitira akalenzi ako (ako, ako)
Fameica weeyisa nga bajamaica! (mwana)
Ate ba rapper basibuka mu America
By’oyambala nze ndaba bikuleega enkaka
Ebbugumu lyomunda ly’erikuviirako owunya kaabuvubuka
Toseka, owabya abantu ate oginika!
Ragga ewammwe yafuuka ddi hip hop?
Ba rapper bwe tukuŋŋaana otuwangamu ku gap (totusemberera)
Olikola otya ng’abantu bakooye okwemoola?
Nga bakooye okulaba obuzinabwo obw’abalema (otyo)
What you gonna do fella?
What you gonna do?

Victor ente wagisuna n’ekugwiira
Kya nnaku nnyo nti tokyasobola na kuyimirira (yamumenya)
Dear Agent, (yeah)
Lwaki okola work in future to regret? (maaso eyo)
Ani aligeegeenya ebikulukutobyo ng’ofuuse mayiti?
Oli rapper wa ddala era nkuwa respect
Naye ekinnuma bw’oligenda oligwa flat

Nzijukira okuwulira ku rapper eyeeyita Sevo
Yaleeta engalabi abaana ne bamulaga level
Ye yadda wa ?
Obwongo obuyiiya bwakala ? (mumulabako ?)
Oba manager yamugamba lindako ossumulula ?
Yenze omwana asomesa abasomesa
Mutima gw’abalaasi sisirikira binnyiiza
Abannyiiza nyombye mpabudde naye era sisoozezza
Nze agaba akaliga nga mu church mpita faaza
Competition is dead ebyo biboozi by’abalemwa
Rhyme ziba zibaweddeko nga tebakyalina bya kufulumya
Ke kaseera musirike mubunize ebimwa
Mbu tebatumanyi ye yabadde siteetimentiye
Mumumbuulize ebbaluwa ya Onalebo yali yiye?

Muddeyo mubagambe akalenzi kazze nnyo
Rhymes kazipanga kakuba nnyo
Obwongo bwe bukulu naye ate kato nnyo
Tokeewagaamu bwe kayingira akazannyo
Ab’ekidandali musinikire eyo ebinnyo
Mpozzi ne kyembadde neerabidde
Bano abagamba ba rapper bava Ntinda simanya Rubaga
Ono yavudde Najjanankumbi ku Stella
(Awo ewa Chair, abaana boomu Ghetto)

Mulina obuugi mitwe
Kambatwale ewa Eddie Mutwe abakolokote ebitwe
Ffe bye tukuba tebabikuba
Bo bye bakuba tubikuba
Nze neemanyi manyi
Ate naawe manyi omanyi manyi
(Zero Musanvu, woo, Jonah Musanvu )

Nze neeyita Jonah Seven
Naye gwe oli wa ddembe okumpita Yonah Musanvu
Kati ba rapper abasinga nkakasa bayiise amaviivi
Ate bwemuntambulirako ennyo ngya kubabikkulamu
(wha-what you gonna do fella?)
Kale muyimirire (laba kiri kisigadde kitudde!)
Nze nga ssentebe olukiiko ndugaddewo
The bright is very future

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *