Dr. Lover Bwoy
Bombos
We beat dem badder
X on the Beat

Munno omutima gummanja
Nguterese ebbanga guwunya nga kyennyanja
Buli lunaku love yo gye nkuŋŋaanya
Era bw’onkyawa oba ondese wakati mu nnyanja
Ku lulwo nze sitya basawo bakinnansi
Mukwano ka dance
Ompoomera nga naanansi
Katugeze nga nvudde mu bulamu bw’ensi
Bwe mbeera sinnabuvaamu nsabayo ka chance
Nnoonya mukyala ananjagalako
Nga ne bwe mba siriiwo ananjogerako
Kagaati aka toosi anansalirako
Anaazuukuka mu ttumbi n’ansabirako

Weeraba
Bambi ŋŋenze kukola weeraba
Aah hmm weeraba
Munnange ŋŋenze kukola weeraba (ŋŋenze)
Weeraba
Bambi ŋŋenze kukola weeraba
Aah hmm weeraba
Munnange ŋŋenze kukola weeraba (gwe nindaamu eh)

Ne bwe ndiba dear ku ludda lw’abalabe
Nditolokawo nnyabo nzije nkulabe
Ne bw’oliba nga face yo ejjudde embalabe
Yenze muvubuka alikwesibangako onjagale
Babe, kigambo kinkuumire
Nga ne bwe mba siriiwo era okitereke
Omutima munnange baagutagaza
Naye nsuubiza ne bwe nfa gw’agusigaza
Nkuwoze ebbanja, lino bbanja
Biwundu by’omutima tobikosanga
Ne bwe wayita ebbanga, tondekanga
Nkusaba oneekuumire

Weeraba
Bambi ŋŋenze kukola weeraba
Aah hmm weeraba
Munnange ŋŋenze kukola weeraba (ŋŋenze)
Weeraba
Bambi ŋŋenze kukola weeraba
Aah hmm weeraba
Munnange ŋŋenze kukola weeraba (gwe nindaamu eh)

Munno omutima gummanja
Nguterese ebbanga guwunya nga kyennyanja
Buli lunaku love yo gye nkuŋŋaanya
Era bw’onkyawa oba ondese wakati mu nnyanja
Kigambo kinkuumire
Nga ne bwe mba siriiwo era okitereke
Omutima munnange baagutagaza
Naye nsuubiza ne bwe nfa gw’agusigaza (babe)
Nnoonya mukyala ananjagalako
Nga ne bwe mba siriiwo ananjogerako
Kagaati aka toosi anansalirako
Anaazuukuka mu ttumbi n’ansabirako

Weeraba
Bambi ŋŋenze kukola weeraba
Aah hmm weeraba
Munnange ŋŋenze kukola weeraba (ŋŋenze)
Weeraba
Bambi ŋŋenze kukola weeraba
Aah hmm weeraba
Munnange ŋŋenze kukola weeraba (gwe nindaamu eh)

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin