Weekuume, weekuume
Kuba nange bwendi
Yadde ebikemo bingi weekuume
Tebakusigula
Kirinkutula nga nkizudde
Nti wasuula obwesigwa
Nkwesize nnyo, ooh
Bambi tonjiwa
Mu mutima gwange togenda kuvaamu
We nasibira we nasibira
Nkwekuumira nnyo dear
Nkusabye naawe oneekuumire
Teri kirabo ky’olimpa kusinga kw’ekyo
Kiriba kiki ate ekyo?
Amazima ne bw’ompa ensi n’eggulu
Nga toli mwesigwa tebimmala
Tyanga Katonda
Y’engabo gye nkuwa mu bulamu
Sitaani bwaba akulumbye
Ye Mukama teri kimulema
Weekuume, weekuume
Kuba nange bwendi
Yadde ebikemo bingi weekuume
Tebakusigula
Kirinkutula nga nkizudde
Nti wasuula obwesigwa
Nkwesize nnyo, ooh
Bambi tonjiwa
Obulamu bwo bukuume bulungi
Kuba essanyu lindi mu ggwe
Onsingira ffeeza ne zaabu
Munnange weekuume bulungi
Nsula sseebase bwoba nga tonadda
Mba ndowooza bingi
Ebbuba ekirireeta love
Munnange tokitwala bubi
Omuntu yeekuuma yekka
Kyo nkimanyi bwekiri mukwano
Omutima gwo toguganya kukoowa
Weekuume nange bwentyo
Weekuume, weekuume
Kuba nange bwendi
Yadde ebikemo bingi weekuume
Tebakusigula
Kirinkutula nga nkizudde
Nti wasuula obwesigwa
Nkwesize nnyo, ooh
Bambi tonjiwa
Abantu b’ensi Eno
Baba ba nkwe nnyo
Ebigambo byabwe
Tebikuyinulanga
Emikwano osaana ofune
Eginaakuzimbanga
Weekuumire mu Mazima
Kinaakuzimba
Weekuume, weekuume
Kuba nange bwendi
Yadde ebikemo bingi weekuume
Tebakusigula
Kirinkutula nga nkizudde
Nti wasuula obwesigwa
Nkwesize nnyo, ooh
Bambi tonjiwa
Weekuume, weekuume
Kuba nange bwendi
Yadde ebikemo bingi weekuume
Tebakusigula
Kirinkutula nga nkizudde
Nti wasuula obwesigwa
Nkwesize nnyo, ooh
Bambi tonjiwa