Wayawula Ennyanja Lyrics – Joseph Ngoma

Ani alina obwesigwa?
Bannange, nga Mukama?
Ye bw’ayogera talimba
Ne by’asuubiza abituukiriza
Abalokole yatusuubiza
Okuyita mu Muzeeyi Museveni
Nti agenda tutongoza
Ng’enzikiriza mu Uganda
Ne tusuubira
Era ne tusaba nnyo Mukama
N’anyweza ekisuubizo
Omuyaga ne bwe gwajja tegwakitwala
Tuba tuli awo
Mukama talekulira babe
Obulokole ne bukkirizibwa
Ng’enzikiriza mu Uganda
Twasooka gwa biwempe
Yesu n’ayamba ekkanisa
Guno gwa nakyewa
Naye y’atuwanguzza
Nalaba n’agange
Ku mukolo eri gye gwali
Nga gavumenti
Etongoza Obulokole ng’enzikiriza

Wayawula ennyanja
Ne mubaamu ekkubo
Omwo mwe twayita
Ne tuva mu buddu
Walwana n’abo abaalwananga naffe
Bwe wabakuba
Tebayinza kuddamu, eh eh
Wasuubiza ng’abantu baweddemu amaanyi
Watuggyako ejjinja
N’otuwa obulamu

Weebale nnyo Mukama
Olw’ekisuubizo ekyatuweebwa
Watwanukula, ne kituukirira ssebo
Omanyi omuntu okweyama
N’atuukiriza ssi kyangu
Y’ensonga lwaki bagamba
Nti akusuubiza akira akumma
Kyali nga kirooto
Ani yali amanyi abange?
Yesu alina amaanyi
Agakyusa embeera, hmmm
Ffe be baagayanga
Nga batuyita ba nakyewa
Kati tufuuse ensonga
Agulumizibwe Mukama
Wamma Abalokole
Tubuulire enjiri
Mukama yatema ekkubo
Ye bw’aggulawo ani aggalawo?
Kino ky’okoze Mukama
Tulinyumiza n’abaana
Otwerabizza ebyayita
Weeraze amaanyi

Mukama
Wayawula ennyanja
Ne mubaamu ekkubo
Omwo mwe twayita
Ne tuva mu buddu
Walwana n’abo abaalwananga naffe
Bwe wabakuba
Tebayinza kuddamu, eh eh
Wasuubiza ng’abantu baweddemu amaanyi
Watuggyako ejjinja
N’otuwa obulamu x 2

Submit Corrections