This is for you
This is for you beautiful
Sweet Melody

Mponye obuwuulu bannange obw’omu mbwesambye
Nakozeeyo omupango ne nfunayo afumba  
Nze omuvubuka omuto omulungi kati nina ankuuma
Anjagala nga bwendi ate nga tannyooma, babe
Ono wa mpisa atya Katonda
Bw’asobya yetonda
Tawuliriza ŋŋambo
Ono ggwe nonze
Y’amanyi omukwano ooh ooh, ooh oh
La la la la eh yi eh

Aah, aah
Nafunye wa mpisa y’aba ankuuma
Aah, aah eeh
Omulungi aweesa ekitiibwa
Aah, aah
Nafunye wa mpisa y’aba ankuuma
Ooh oh
Omulungi aweesa ekitiibwa

Nkusuubiza okubeera naawe sigenda kwekyusa
Nkulage omukwano mungi sigenda kuswaza
Ngya kukola bingi babe sigenda kweswaza
Ofunye omusajja omulungi atagenda kudaaza, babe
Ndi wa mpisa ntya Katonda  
Nze bwe nsobya netonda
Ssiwuliriza ŋŋambo
Nze gw’ofunye
Mmanyi omukwano ooh ooh, ooh oh
La la la la eh yi eh

Lwa leero, ooh oh
Lwe tubadde tulinda lutuukiridde
Bulijjo, nze naawe babe
Kye tubadde tulinda kituukiridde
Lwa leero, ooh oh
Kye tutuuseeko nga kisukkiridde
Buli omu, nze naawe mukwano
N’emikwano gitusanyukidde, babeeeee…….

Nafunye wa mpisa y’aba ankuuma
Omulungi aweesa ekitiibwa
Nafunye wa mpisa y’aba ankuuma
Omulungi aweesa ekitiibwa

Leero, ooh oh
Ono, ggwe nfunye nze
Ggwe nfunye owange
Mwagala nnyo nze eeh
Nafunye omwana nze
Nafunye owange nze
Nafunye ekyana nze
Nafunye omwana nze
Nafunye owange
Nafunye ekyana babe
Ooh oh oh

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *