Oh God
Cmert Keys on the beats
Wakayima Wakayima (eh!)
Magezi ga Wakayima
Coopy Bly again
Wakayima Wakayima (hmmm!)
Bintu bya Wakayima
Backyard

Magezi ga Wakayima (Wakayima)
Bw’ogakozesa osinga n’Abachina (oh God)
Magezi ga Wakayima
Ne Wampologoma yameggebwa Wakayima (aah)
Magezi ga Wakayima (Wakayima)
Bw’ogakozesa osinga n’Abamerika (oh God)
Magezi ga Wakayima (gwe)
Ne Wampologoma yameggebwa Wakayima (aah)

Alright den
Wakayima gye yali asula
Kabody Wampologoma ng’abatulugunya anti anha
Anti amaanyi g’alina
Ky’ayogera ku kyalo tewaba amuwakanya
Kati laba, yakeera era n’ateesa
Beerondemu buli kumakya gwanaalya (eh!)
Nga bwe lutuuka olunaku lwo lw’oliibwa
Okeera ku makya n’ogenda ewuwe n’afenka (oh!)
Wante yakaaba nnyo
Yakaaba yamala era n’aliibwa (eh)
Ne Wankima n’akolima
Ebikolimo tebitta kamunye ne bamufenka (eh)
Kati laba, olwa Wakayima lwo ne lutuuka
Ng’anaawona okuliibwa era bw’abeera (akola atya?)
Lw’aliibwa lwakeera n’ayiiya amagezi
Agazza Wampologoma e zzirakumwa

Magezi ga Wakayima (Wakayima)
Bw’ogakozesa osinga n’Abachina (oh God)
Magezi ga Wakayima
Ne Wampologoma yameggebwa Wakayima (aah)
Magezi ga Wakayima (Wakayima)
Bw’ogakozesa osinga n’Abamerika (oh God)
Magezi ga Wakayima (gwe)
Ne Wampologoma yameggebwa Wakayima (aah)

Kw’olwo Wakayima yasula ng’abalirira
Obwongo bwesera teyeebaka nga balala
Wampologoma eno amwesunze alinda munyama
Wakayima w’atuukira ebibuuzo ne bamusoya
Nti “Wakayima, kiki oluddeyo Wakayima?”
“Bansonyiwe waliwo andeese ng’apalabanya”
Nti “naye gwe Wakayima
Ani oyo anvuganya Wakayima?”
“Ku mugga waliyo empologoma endala”
Kabody n’anyiiga obusungu ne bulinnya
Ani oyo akomba mu ssowaani y’emu mwendiira?
Ntwalaayo ku mugga gy’omulabye gy’abeera
Nsooke mmukube mmugunjule ategeere nz’asinga
Ku mugga bakkirira baamala era baatuuka
Wampologoma amaanyi alina amagezi gaagaana
Bw’atunula mu mazzi ye nno n’alabamu empologoma endala
Bw’agwaamu agirume yafa bufi Wakayima n’awona gwe!

Magezi ga Wakayima (Wakayima)
Bw’ogakozesa osinga n’Abachina (oh God)
Magezi ga Wakayima
Ne Wampologoma yameggebwa Wakayima (aah)
Magezi ga Wakayima (Wakayima)
Bw’ogakozesa osinga n’Abamerika (oh God)
Magezi ga Wakayima (gwe)
Ne Wampologoma yameggebwa Wakayima (aah)

Wakayima Wakayima (eh!)
Magezi ga Wakayima
Coopy Bly again eeh
Wakayima Wakayima (hmmm!)
Bintu bya Wakayima
Anyway

Eky’obugagga ekisinga kiba kuba na magezi
Eky’akabi ekisingayo era butaba na magezi
Ekyawonya Wakayima kuba na magezi
Ekyassa Wampologoma era butaba na magezi
Bw’atunula mu mazzi alaba kifaananyi kye
Amagezi amatono gamugamba oyo mulabe we
Bw’atyo Dawudi era bwe yakuba Goliath
Weesiga Mukama oli yeesigama ku maanyi, ha!
Wampologoma yafa
Ka Wakayima akatono kati ke tunyumya, eh eh hmmm
Ne Goliath bwe yafa
Ka Dawudi akavubuka kati ke tuwaga
Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
Atalina fukamira osabe Mukama y’agaba
Hmmm, toba nga Wampologoma
Weesige oyo agaba amagezi ojja kuwangala eh!

Magezi ga Wakayima (Wakayima)
Bw’ogakozesa osinga n’Abachina (oh God)
Magezi ga Wakayima
Ne Wampologoma yameggebwa Wakayima (aah)
Wakayima Wakayima
Wakayima Wakayima
Wakayima Wakayima
Wakayima Wakayima
Skillz on the beat

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published.