Wa Buyinza Lyrics – Judith Babirye

Hallelujah
Hallelujah Hallelujah
Hallelujah
Hallelujah

Wa buyinza
Era wa kitiibwa
Ono mu b’ekitalo ennyo
Tewali amwenkana
Tebamutiisatiisa
Ono tebamukangakanga
Y’amanyi amagenda gange
Era n’amadda

Wa buyinza Mukama
Wa buyinza
Wa buyinza oyo
Era wa kitiibwa
Wa kitiibwa ssebo
Mu b’ekitalo ennyo
Tewali amwenkana
Ooh, tebamutiisa daddy
Ono tebamutiisatiisa
Tebamutiisa Yesu oyo
Yesu tebamukangakanga
Y’amanyi amagenda gange
Hallelujah, Hallelujah
Era n’amadda
Wa buyinza obusembayo
Wa buyinza
Nannyini ggulu n’ensi
Era wa kitiibwa
Landiloodi abasinga
Mu b’ekitalo ennyo
Ooh
Tewali amwenkana
Eeh yeah
Ono tebamutiisatiisa
Hallelujah, Hallelujah
Yesu tebamukangakanga
Oooh
Y’amanyi amagenda gange
Oooh
Era n’amadda

Mbu kati wamugambye
Bw’atakuwa mmotoka omukooye
Tokigezaako mukwano
Era wamugambye
Bw’atakuwa mbaga omusudde
Nkulaba weewera, mbu
Bw’atakuwa nnyumba omukooye
Naye mu b’ekitalo
Yesu tebamutiisatiisa

Wa buyinza obusembayo
Wa buyinza
Y’alina taapu ya oxygen
Yeee
Ky’ova olaba tuvunnama wooli
Laba laba tuvunnama wooli awo
Yesu wange
Eeh
Eeh yimusa emikono omusinze
Oyagala ebintu bingi
Byonna abirina Mukama mugambe
Ssebo ssebo tewali akwenkana
Ddala ddala tewaliba akwenkana
Oooh
Ooh

Kati weesibye yirizi (nkulaba)
Omansizza omusaayi gw’ebisolo (weekalalakaasa)
Oba n’ogwabantu
Bonna bakutidde (bakutidde)
Okutte amafumu (amafumu)
Ng’oyise emisambwa
Yesu tebamutiisatiisa
Y’alalula abalogo (eeh)
Oyogera bingi (oyogera)
Olina emmindi ennene (nnene)
Emitwe kkumi na mukaaga
Waliyo n’abiri, n’ataano n’ekikumi
Byonna bw’obikuŋaanya
N’ogattako n’emigiini (hmmm)
Mu b’ekitalo (Yesu waffe)
Yesu tebamutiisatiisa
Hallelujah ssebo

Wa buyinza daddy
Empologoma empologoma ewuluguma
N’eyuza nze omulabe
Teri teri teri teri tewaliba amwenkana
Ono y’avunnamya ensozi
Ono y’awaniridde ebbanga
Eteri mpagi
Ooooh yeah
Eeeh erinnya lye Yesu
Onooo
Tebamutiisatiisa
Tebamutiisatiisa
Tokigezaako tokikola aah
Hmmm
Hallelujah Hallelujah
Wuluguma wuluguma
Wuluguma empologoma ya Yuda
Oli wa buyinza wuluguma
Ssebo wuluguma essaawa ey’omukaaga
Ssebo wuluguma essaawa ey’omwenda
Wuluguma ku makya
Amagenda ogamanyi
Yeah Mukama

Bw’oyogera Landiloodi
Ono ye Landiloodi
Ensi n’okujjula kwayo
Byonna bibye (Hallelujah)
Oyita mu bbanga (oyitayo)
Oyita ku mazzi
Oba ku ttaka (ku ttaka, y’afuga)
Mukama asigala y’afuga (Hallelujah)
Tomutiisa na accident nedda
Tomutiisa na bitabo tokigeza
Tomutiisa na bigambo
Tomutiisa na mizimu gyo na mmindi
Bakuyita, bakuyita
Nantayogerwako Bemba Musota
Naye Yesu ono
Gwe twakkiriza byonna abasinga
Hallelujah

Eh eeh
Eh heh
Tewali
Tebamutiisa daddy waffe
Tebamutiisa Yesu oyo
Ng’oli mu mbeera kati guma omwoyo
Hmm musinze
Y’amanyi
Abeerawo paka ku ssaawa esembayo
Y’amanyi abaana bange
Amanyi bakubanja ennyumba
Ebikuluma abimanyi guma guma…
Guma guma
Y’amanyi amagenda
Y’amanyi mukoowoole
Yesu

Submit Corrections