Nebwebanaanaaba spirit
Olibeera wange njagala bintu bya quality
Nessim Pan Production

Tekintuukangako bukya mba mu dunia
Nga nerwesirina kye nkoze
Omuntu ajja n’ampaana
Okwagala kuba nga gorillos
Singa buli kugira mmeketayo ekiweke
Naye bino birimu emitima
Gw’oyagala yekka yekka y’abimala
Tutaddewo akagero akatakoma kunyuma
Mutulinde mu bitabo
Ndagirira akabira gye bakweka emitima
Ngukukulirire bulira
Nze wendi baby buli w’onjagalira
Every single morning
Nali nsabirira kufuna ku mulenzi
Atali nnyo mu buvuyo, kiwedde
Mbinyumirwa nga bampise mukazi wo
Nzenna omutima gukubira wagumu
Olwaleero njagala okimanye honey
Tebakulimbalimba kino kyama

Buli mukazi ayagala okumuyita muka gundi
Bye tuba tuloota (binyuma nnyo)
Bino by’olaba nga twefuula single
Mbu sikyanoonya kuba kulimba (tweyisaako)
Buli mukazi ayagala okumuyita muka gundi
Bye tuba tuloota (binyuma nnyo)
Bino by’olaba nga twefuula single
Mbu sikyanoonya kuba kulimba (tweyisaako)

Omutima gwange muyi
Agulina alina kuba nga mumalirivu
Gutudde ku kikondo kimu
Ate nkisibisa kawuzi tokakutula
Nina olufunyiro lumu nga kalira
Omwagalwa tobeeramu okubagana
Byonna ebimbulako ndibigula
Mbijjuze tunyumirwe enkolagana
Nebwebalikugamba kipali ndikutwala n’okinaaba
Batenda misambwa kulungiwa bagukime n’akabooda
Olinga akazindaalo akeeru
Akayimba obuyimba bwa love
Baby njagala obeere awo
Nga nkutunulatunulako ooh

Buli mukazi ayagala okumuyita muka gundi
Bye tuba tuloota (binyuma nnyo)
Bino by’olaba nga twefuula single
Mbu sikyanoonya kuba kulimba (tweyisaako)
Buli mukazi ayagala okumuyita muka gundi
Bye tuba tuloota (binyuma nnyo)
Bino by’olaba nga twefuula single
Mbu sikyanoonya kuba kulimba (tweyisaako)

Njozayozaako
Okuwona agayaaye
Guno gwe mukwano
Nga sikuweza muwendo
Nebwebanaanaaba spirit
Olibeera wange njagala bintu bya quality
Nerwonetaaga security
Ojjanga wange, you gonna feel it
Every single morning
Nali nsabirira kufuna ku mulenzi
Atali nnyo mu buvuyo, you’re so kind
Byonna tuli ba kubikola
Kuva ku biriyo paka ku bitali
Kiwedde

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *