Wuuwi
Yaaye eeh
Na na na na na
Ayi, eeh

Buli muntu waali embeera ng’ekaaye
Obulyake enguzi buno bukenuzi
Naye bw’ovaayo n’oyogera amazima
Bwotattibwa waakiri osibwa oooh oh oh

Tusaabala lyato naye nga tumanyi
Mu maaso mungi omuyaga
(Mu maaso mungi omuyaga)
Mu makomera otusangayo
Nga n’emisango batuteekako gyabwe eh
Tetulina gye tulaga (tetulina)
Amazima awatali nkyukakyuka no oh oh
Eggwanga lidda mabega
Mukama tutaase abakulembeze abayeekera, eh
Tusaabala lyato naye nga tumanyi
Mu maaso mungi omuyaga
(Mu maaso mungi omuyaga)
Mu makomera otusangayo
Nga n’emisango batuteekako gyabwe eh
Tetulina gye tulaga (tetulina)
Amazima awatali nkyukakyuka no oh oh
Eggwanga lidda mabega
Mukama tutaase abakulembeze abayeekera

Wewunye abandijunye lino eggwanga
Bonna abo makomera aah
Abaana b’abantu battiddwa ah
Nga tebalina misango
Bano abeeyita abanunuzi
Bannange abasajja bannanfuusi, eh
Bano abeeyita abanunuzi
Training bakola ziri ez’ekitujju, eh
Omunaku n’omwavu
Omulamuzi tayagala kubawuliriza, eh
Bino ssi bigambo byange
Eno Uganda y’edaaga, oh oh

Tusaabala lyato naye nga tumanyi
Mu maaso mungi omuyaga
(Mu maaso mungi omuyaga)
Mu makomera otusangayo
Nga n’emisango batuteekako gyabwe eh
(Batuteekako gyabwe)
Tetulina gye tulaga (tetulina)
Amazima awatali nkyukakyuka no oh oh
Eggwanga lidda mabega
Mukama tutaase abakulembeze abayeekera, eh

Kati tuli mu kunyigirizibwa okutagambika
Mu nsi yaffe, yeah eh
Mu masomero tugenzeeyo bye twasomerera
Byonna tebitugasa no
Eyasomerera obusomesa
Omusanga ku boda kwe yeeyiiyiza
Ate n’obusente bw’akuŋŋaanya
Aba traffic nga babulookeera, eh
Ye nno wayita mmeka?
Ng’aba Local Defence bamuyoola, woyi!
Olw’okubulwa obwogerero mu ggwanga lye
Mazima wuuyo mu kkomera, oh wo wo

Tusaabala lyato naye nga tumanyi
Mu maaso mungi omuyaga
(Mu maaso mungi omuyaga)
Mu makomera otusangayo
Nga n’emisango batuteekako gyabwe eh
(Batuteekako gyabwe)
Tetulina gye tulaga (tetulina)
Amazima awatali nkyukakyuka no oh oh
Eggwanga lidda mabega
Mukama tutaase abakulembeze abayeekera, eh

Uuh uuh
Uuh uuh
Uuh uuh

Mazima tuli mu buwambe
Wulira Uganda biwoobe, eh
Abakyala bafudde
Ku makubo kwe bazaalira, eh
(Ku makubo kwe bazaalira)
Nga ne mu malwaliro oh
Teri ddagala, eh (teri ddagala)
Tetulina gye tulaga (tetulina)
Awatali nkyukakyuka, wo yi
Tetulina gye tulaga
Mukama tutaase abakulembeze abanyunyusi, wo yi

Tusaabala lyato naye nga tumanyi
Mu maaso mungi omuyaga (ooooh eeh)
(Mu maaso mungi omuyaga)
Mu makomera otusangayo
Nga n’emisango batuteekako gyabwe eh
(Batuteekako gyabwe)
Tetulina gye tulaga (tetulina)
Amazima awatali nkyukakyuka no oh oh (aaah)
Eggwanga lidda mabega (hmmm)
Mukama tutaase abakulembeze abayeekera

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *