Eh yo eh yo
Mumpulira eyo? (hmmm)
It’s your boy Jim Nola MC
Abedunego babe (hmmm)
Tulonde in a hip hop style
Head boy

Besigye yakanyuga akati ng’omukka takyagubaka
Mukama mulungi laba Omubanda wa Kabaka
Eyali emabega naye n’akyoma
Ng’omupiira ogugudde maggwa n’ayisa
Omuzannyo ne gukoma
Abamu ne baapowa n’engatto baaleka mu race
Naye Bobi n’akuuma pace
Yandibadde alya omugaati n’akita
Naye tasanyuka nga Uganda efiirwa
Ssi mubazzi wa keesi
Bobi ye fire base eyavaako akaliro ka change
Kati muzeeyi akaaba kamwokya (ayi, ayi)
Ate teri kuzikiza tulina okutuuka mu Uganda empya
Kale nebwetutuuka nga tupooca
Mind z’abannayuganda zaali zaggalwa
Naye ekigambo kya Robert kyaggula nnyingi
The way we need change can’t change
Nga bwotayinza kufuna change mu kikumi kya siringi
Police eteekwa okola ebirungi ng’okuuma freedom
Kyannaku bagikozesa bibi nga condom
Ng’oyagala ensi yo londa Kyagulanyi
Tugende tulonde obutalonda eyo
Obutalonda eyo symptom

Fenna tugende
Bannayuganda tulonde
Use your mandate
Eggwanga lyaffe likyuke
Fenna tugende
Ba Ghetto yuts tulonde
Use your mandate
Eggwanga lyaffe likyuke

Kituufu ebbanga lyonna akalulu obadde okasuula
Yes, naye kati eno essaawa ya kulonda
N’olwekyo nga kkumi na nnya tosuula
Keetonnye kagwake manvuuli ginyweze omukonda
Gwotasuubira kuba mu future, mbuuza
Omwesiga otya okusecuringira future? (otya?)
Kyova olaba Robert Kyagulanyi ng’engeregeze
Ffe y’abeera ku mimwa gyaffe buli lukya
Munnayuganda yeesibe bbiri abeere mugumu
Guno gwe mwaka gwe, bbiri abiri mu gumu
Nga kkumi na nnya lumba mu rub a dub style
Onoonye umbrella ogitickinge ne bbayiro
Tickinga
Umbrella bw’ogiraba tickinga
Ayi ayi
Nkugambye tickinga
Manvuuli bw’ogiraba tosuula
Ayi ayi

Situka tugende
Bannayuganda tulonde
Use your mandate
Eggwanga lyaffe likyuke
Fenna tugende
Ba Ghetto yuts tulonde
Use your mandate
Eggwanga lyaffe likyuke
Londa!!!

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *