Abaalokoka
N’abamusembeza
Ye, ye, ye, ye
Yesu be yanaaza n’omusaayi gwe ye
Omutukuvu
Abaakola obutuukirivu
N’okubuulira, eyo enjiri
Abaayimusa erinnya lye kululi ye
Ye, ye, ye, ye
Abaayigiriza ekigambo kye
Ne baleeta bangi mu kisiibo kye

Tuliyambala
Tuliyambala
Engule ezimasammasa
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Mu Yeruzaalemu empya
Tuliyambala (tuliyambala)
Tuliyambala (tuliyambala)
Engule ezimasammasa (alleluia)
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Mu Yeruzaalemu empya

Abalwanyi ba Mukama
Wano ne mu mawanga gonna
Tukuŋŋaane, tube bumu
Tuyimuse Katonda waffe
Tuyimbe, tusaakaanye
Tuyimuse amaloboozi waggulu
Olwo tulimulaba, mu kitiibwa kye
Alitusangula amaziga
Alitunaazaako ennaku
Nga tuwonye okufa
N’emiteeru gy’ensi eno oh
Liriba ssanyu, okulaba Omulokozi
Alyoke atutikkire, engule ezimasaamasa
Nga tutuuse, mu Yeruzaalemu

Tuliyambala
Tuliyambala (eeh)
Engule ezimasammasa
Olutalo nga luwedde (hmmm)
Tuliyambala engule
Mu Yeruzaalemu empya
Tuliyambala (tuliyambala)
Tuliyambala (tuliyambala)
Engule ezimasammasa (alleluia)
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Mu Yeruzaalemu empya (hmmm)

Okusaba nga kuwedde
Tuliyambala engule
Okusiiba nga kuwedde
Tuliyambala engule
Okukaaba nga kuwedde
Tuliyambala engule
Mu Yeruzaalemu empya
Hmmm Yesu waffe ng’akomyewo
Tuliyambala engule
Emisango nga giwedde
Tuliyambala engule
Okubonaabona nga kuwedde
Tuliyambala engule
Mu Yeruzaalemu empya

Tuliyambala (ooh)
Tuliyambala (ye ye ye ye)
Engule ezimasammasa (oooh)
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Mu Yeruzaalemu empya (eeh eeh)
Tuliyambala (eeh)
Tuliyambala (tuliyambala)
Engule ezimasammasa
Olutalo nga luwedde (oh, eh)
Tuliyambala engule
Mu Yeruzaalemu empya (ooh)

Submit Corrections

Leave a comment