All
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tuliyambala engule
Tuliyambala engule
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
Bobi
“Never, never and never again shall it be
That this beautiful nation
Will again experience the oppression
Of one by another
And dare the indignity
Of being the skunk of the world”
Yaga yaga yaga yeah
All
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tuliyambala engule
Tuliyambala engule
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
Tuliyambala
Tuliyambala
Tuliyambala
Tuliyambala
Engule ezimasammasa
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
Nubian
(Obusosoze)
Obusosoze nga buwedde
Tuliyambala engule
Enguzi nga ewedde
Tuliyambala engule
N’ekibbattaka nga kiwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
Dr. Hilderman
Teargas (Teargas) ng’awedde
Tuliyambala engule
Eh obwa nakyemalira nga buwedde
Tuliyambala engule
Obukenuzi nga bugenze
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
All
(Tuliyambala)
Tuliyambala
Tuliyambala
Tuliyambala
(Tuliyambala)
Engule ezimasammasa (ezimasammasa)
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
Namatovu
Obuyinza mu mikono gy’abantu
Eyo y’ensi ensuubize
Tuliba nga tebakyatufugisa mmundu
Mu nsi ensuubize
Mu ggwanga ery’amazima n’obwenkanya
Ensi ensuubize
Tulinyumirwa Uganda eyo
Bobi
Kale no funa endagamuntu
Osobole okwebeereramu
N’okukyusa ebikunyiga
Ago amaanyi tugalina
Era, People Power ng’ewangudde
Tuliyambala engule
Tulinyumirwa Uganda empya
Saha
Omusolo nga gukendedde
Tuliyambala engule
Abalimi nga bafunye akatale
Tuliyambala engule
Nga mu nsiiyo olina eddembe
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
Ntale
Amalwaliro nga gateredde
Tuliyambala engule
Nga tetukyafa nga tuzaala
Tuliyambala engule
Nga buli kikyamu kiteredde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya
Pr. Bugembe
Mukozese mirembe temulwana
Tuliyambala engule
Mwenna muli baana ba Ruhanga
Tuliyambala engule
Bannayuganda tuli baaluganda
Tuliyambala engule
Tulinyumirwa Uganda eyo
All
Tuliyambala
Tuliyambala
Tuliyambala
Tuliyambala
Engule ezimasammasa (ezimasammasa)
Olutalo nga luwedde
Tuliyambala engule
Tulivimba mu Uganda empya