Tulage Ekkubo Lyrics – Wendy

Eh yeah yeah
Stone Beats
Eh yeah yeah
Aah ah
Wendy

Mukama nzize
Mu maaso go Kitange
Nsaba ekisa kyo
Kuba bye ndabye binnyinze
Ensi ng’ennyiga
Oba mbitandike ntya munnange?
Wulira emiranga
Emikono tugitadde mu bbanga
Yadde oba nfunziddwa, menyeddwa
Nsingiddwa ŋumidde ku gwe ssebo
Kibuyaga ne bw’ajja n’akunta n’akunta
N’anzunza nsibidde ku gwe wekka

Tulage ekkubo
Ensi eno ekyuse nnyo taata
Tuwonye ssebo
Ensi eno enyiize nnyo etiisa
Tulage ekkubo
Ensi eno ekyuse nnyo taata
Tuwonye ssebo
Ensi eno enyiize nnyo etiisa

Mukama nzize kusaba naye mpaaba
Eno endwadde zitta abantu
Enjala teri na kya kulya, hmm yeah
Abatufuga tebakyafaayo
Entalo tezikyazikira
Eno biwoobe kulaajana
Mukama mpanise emikono
Laba mpanise emikono
Mukama omutima ngumenye
Laba omutima ngumenye
Mukama mpanise emikono
Laba mpanise emikono
Mukama omutima ngumenye
Laba omutima ngumenye

Tulage ekkubo
Ensi eno ekyuse nnyo taata
(Ekyuse nnyo taata eeh)
Tuwonye ssebo
Ensi eno enyiize nnyo etiisa
(Oooh oh yeah yeah)
Tulage ekkubo
Ensi eno ekyuse nnyo taata
(Oooh oh)
Tuwonye ssebo
Ensi eno enyiize nnyo etiisa
(Yeah yeah eeh)

Leero olye
Ku lulwo Katonda n’ensi yange
Otuviireyo kitange
Otubeere eeeeh!

Ekyuse nnyo taata oh yeah
Tuwonye endwadde
Tuwonye obwavu
Tuwonye
Tuwonyeee yeah
Oooh oh yeah
Ekyuse nnyo taata tuyambe
Ooohn oh
Yeah
yeah
Oooh oh
Yeah
Tulage ekitangaala taata

Submit Corrections