Ebintu bingi bye tuyitamu oluusi ne tusirika
Naye tuyisibwa bubi ku mitima
Abangi batuyita na balalu tubayitako
Nga tweyogeza olumu ku makubo
Abantu bakulukusa maziga
Gabayitamu gakkirira tebasula mirembe
Omuntu anyigirizibwa Monday n’ayingira Monday
Nga tafunye wadde ku mirembe
Nze buli lwe ntunuulira Uganda n’ebigirimu
Amaziga ne nkulukusa bantu bange
Omuntu akeera kumakya kukola n’apatikana
Budde kuziba naye n’asula enjala!
Ate nga n’ebimunyiga bingi
Ebimumalako n’emirembe, talina mirembe
Ayagala afuneko ku ssente
Ayogerengako naye mu bantu naye zaabula
Kati Uganda weetuuse ya kusabira nnyo
Abantu bali mu maziga gakulukuta nnyo
Bobi Wine mukimanye yatusabye nnyo
Akalulu kano tukikole tukamuwe nnyo
Kubanga…

Waliwo omulimu omupya
Ogutuweereddwa bantu baffe
Tugukole guggwe
Guno omulimu mutono nnyo
Naye gugasa nnyo Uganda yaffe
Anti tugukole guggwe
Waliwo omulimu omupya
Ogutuweereddwa bantu baffe
Tugukole guggwe
Guno omulimu mutono nnyo
Naye gugasa nnyo Uganda yaffe

Abantu bangi banyigiribwa naye ne basirika
Ate oba okwogera nagwo guba musango
Abangi badduse Uganda yaabwe bagivuddemu
Nga n’obulumi babuweese ku migongo
Nze kati kenjogeddeko kirabika ndi wa kufa
Era kati nindiridde byasi ku mugongo
Akalimu kali kamu Omubanda tumuteekewo
Atufuge alinnyisa Uganda ku mutindo
Ekyo kasita kimala okuggwa n’abatalina mirembe
Baagala kufuna ku mirembe
Akalimu tukakole wamu tetulyejjusa
Tetulyejjusa, tetulyejjusa
Kuba Uganda gye twagala eyeesiimisa
Omutali kusosola mu mawanga n’amadiini

Waliwo omulimu omupya
Ogutuweereddwa bantu baffe
Tugukole guggwe
Guno omulimu mutono nnyo
Naye gugasa nnyo Uganda yaffe
Anti tugukole guggwe
Waliwo omulimu omupya
Ogutuweereddwa bantu baffe
Tugukole guggwe
Guno omulimu mutono nnyo
Naye gugasa nnyo Uganda yaffe
Anti tugukole guggwe

Eeeh
Kat nkubiriza guno omulembe gw’abavubuka
Tuli bapambanyi tewali kitulema
Abaana ba bodaboda muyisibwa bubi nnyo
Naye emitima migumu
Kati nsaba tukolere wamu, tukwatire wamu
Kubanga bwe batunyiga batunyigiriza lumu
Bino ebirungi by’abasajja bya balondemu
Naye nga lwaki bannayuganda mutososolamu?
Aba security abakuuma abantu
Kirabika bubi nga mmwe mutta abantu
Kati Mukama y’agaba, Mukama y’agera
Bulikya lumu na kino ne tukimaliriza
Mukama y’agaba, Mukama y’agera
Nze bampita Luga Fighter toloba
Team Bobi Wine

Waliwo omulimu omupya
Ogutuweereddwa bantu baffe
Tugukole guggwe
Guno omulimu mutono nnyo
Naye gugassa nnyo Uganda yaffe
Anti tugukole guggwe
Waliwo omulimu omupya
Ogutuweereddwa bantu baffe
Tugukole guggwe
Guno omulimu mutono nnyo
Naye gugassa nnyo Uganda yaffe
Anti tugukole guggwe

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *