Tuba Tetulwaza Katinko Lyrics – Angel Sekandi

Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi

Sekandi ekintunuza ng’ava ku lukuusi
Gazibu ageefuze awaka ewange
Sso ate nno ndi wa kisa okirako naawe
Ssikungiza ttemu ssikumba awo
Ebintu byendiyimbako enkya bye mupanga
Ddi lwe ndibeerawo mbulwe emboozi?
Mukama yeebale akumaakuma abakooye
Okuntikka omutwe ogutaggwesa
Leero abasawo be mbase amataayi
Njagala mbambule ebitiibwa ebyo
Male obatuuza mbalage omusawo bw’aba
Era olukimala bibaddizibwe
Omuntu aweebwa atya ekitanda naawe?
N’amalako ennaku teri doozi?
Emuweereddwa okuggyako nga nammwe
Eriyo lwe muyoya mutunnyamize
Eccupa eba ya mutwalo bwe mugamba
Ate ekugendako omaze otoola
Abankuseere balina kufa nkizudde
Omunaku eby’okulwala byesonyiwe

Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi
Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi

Waliwo eyanzibirako ssi bya bulimba
Nti yasangibwa amaze ozaala
Ne bamukaayuukira olw’okuba amuzadde
Diiru yagiggyako abalongoosa
Kwekugamba muliwo kufuna nsimbi!
Omuntu eyejunye akunyiiza olwo?
Biizineesi mwagifudde ki ate nammwe?
Ettima lye mwoleka lisukkulumye
Mbu eddagala eryayitako ate lye mutunda!
Mbatya kye mwekoze e Buganda mmwe!
Obulamu bwaffe mwabutaddemu katemba
Okubuzannyisa nga mwezooza
Kigambibwa lye banyaga eri lye batunda
Balina Pharmacy nabo ezaabwe
Bw’akutuma olina ggula wuwe kubanga
Bwotokikola oleka akuziimudde
Wandibaawo abeerimbika eyo mu mmwe
Nga be bavuddeko emize nga gino
Kuba abasawo baffe be mmanyi balungi
Naye ababoogezaako bangi kati

Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi
Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi

Obusawo mwabukimamu ki mutugambe
Mmwe abatuwolomya okutuusa awo?
Lwa kubusoma naye abamu temwali
Wewaawo abamu balongoofu
Dokita ye Katonda wa buli mulwadde
Ataakiriza amaze okeewa
Era ky’ekibatukonkonya amatumbi
Kuba tetusobola kwetaasa
Mmwe mutubadala ate bwe museera
Mubanja n’abafu mbatenda nze
Mmwe abatubuzeebuze nate tusiimye
Era mu ky’obuyonjo mwebarege
Byonna mwandibikoze mmwe mutucange
Ne mutulekera abakyala abo
Bo emitima eminafu olumala okumwezza
Nnyini omukyala n’akulimba bwatawona
Ate mu gy’ekinnansi emivuyo mingi
Ne ku lutaawone omuwa emmaali
Ye obwana bwaffe bwe musanjaga amatumbi
Buzza musango ki mubuttenga?

Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi
Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi

Ebikolobero ebikolwa abatali batendeke
Bo bavumaganye abangi
Ky’ekyawalirizza abasawo abantubalamu
Okuntuma nzije mbalwanirire
Ku ky’okugaanira abafu omusawo agambye
Mbu babiteekamu nabo cash
Bo bafunira wa lowooza naawe
Ekyo nkivuddeko ne bw’oba ggwe
Abatujjanjaba mugidde mutukyawe
Ebituwalanya nabyo nfaafa
Tugenda kweyigiriza obusawo naffe
Nga tugula empiso tuzeefumite
Teri kisinga bulamu wano bulungi
Ate tebugulwangako ssente
Tofa ndabika y’oli yamba naawe
Ate era temusaanye kwediima
Kati ababavumaganya enkya mubaloope
Ndyoke mpunzike omutwe ewange
Ssiri wala neewunguddemu ngya kudda
Bwentyo ab’emikago nsiibudde

Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi
Tuba tetulwaza katinko
Olwo mutuliike empiiya
Abasawo kirungi mube n’ekisa
Ku luno muyambe buyambi

Submit Corrections