Ogamba oyagala Mukama
Naye olabika olimba
Tosobola kumwagala
Ng’ate nze onsalira musango
Manya nti Mukama gw’oyagala
Y’asonyiwa bonna abeenenya
Naye ggwe ate ndaba
Abasonyiwa b’okuba amayinja
Mazima tosobola kwagala Mukama gwotalaba yii!
Nga nze akuli okumpi muganda wo
Ondaze bukyayi!
Bwe nakola obulungi
Wanjagala weebale nnyo
Naye bwe naweebuukamu awo
Wankyaawa kale oli mukyaayi
Ekibi kimu ne kikwerabiza ebirungi byonna
Lwaki tojjukira?
Obulungi bwe walabako gyendi
Ggwe wano bw’oba osaba
Mpulira weenenya buli kiseera
Kuba akafaananyi singa Mukama naye yali akoowa
Atulaze omukwano
Naye ffe tulaze bukyaayi
Tusabye atusaasire
Naye ffe tetusaasira, maama

Tosala musango
Naawe toligusalirwa
Omanyi ky’osiga
Ate era ky’okungula
Yagala abalabe bo
Era basembezenga
Abuze muyambe
Tomuleka kubulira ddala
Tosala musango
Naawe toligusalirwa
Omanyi ky’osiga
Ate era ky’okungula
Yagala abalabe bo
Era basembezenga
Abuze muyambe
Tomuleka kubulira ddala

Okukola obubi ssi kirungi
Naye ayonoonye tumusonyiwenga
Ng’era Mukama
Bwe yatwagala ffe abaayonoona
Abo bonna b’olaba
Aboonoonye Mukama bamwagala ye
Naye lwakuba nti ne sitaani tabali mirembe
Kale eyanywera, sabira nnyo baganda bo abo
Beetaaga buyambi, naye ssi kubakuba mayinja
Manya luno lutalo
Ng’era ffe balwanyi
Kale munno bw’akubwa okugulu
Tomuleka muwalule mugende
Amukubye okugulu
Tayagala kugulu kwe kwokka
Naye n’obulamu, takoma ku kubba azikiriza
Tuli famire emu eti
Abaana ab’enda emu mu Yesu
Omubi bwe yakyaawa
Yakyaawa ekika kino kyonna
Sonyiwa muganda wo
Bw’aba ng’akoze ebinyiiza gy’oli
Ate era omuyambe
Omubi bw’aba amuzinzeeko
Naye manyaaa

Bambi tosala musango
Toligusalirwa
Hmmm ky’osiga
Kibi nnyo okusiga obubi
Taata, Maama olikungula bubi
Hmmm basembeze abo
Bayambe buyambi
Abuze yeetaaga kuyamba buyambi
Tobakuba ate
Hmmm toligusalirwa bwotalisala musango
Eeh bw’osiga obubi okungula bubi
Baagale abalabe
Luliba olwo ne baba emikwano gy’oli
Abaali abalabe
Tobaleka, tobaleka okubula
Tosala musango
Hmmm Toligusalirwa bambi
Ky’osiga ekyo
Tosiga bubi
Tokungula obubi mukwano oh oh
Hmmm basembeze, basembeze
Tomuleka, tomuleka, tomuleka bambi
Tosala musango
Asonyiwa bamusonyiwa
Atasonyiwa tasonyiyibwa
Hmmm, guma saba
Tosala musango
Hmmm yagala atakwagala

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *