Ayi Mukama
Ebirungi by’otuwa nga bingi nnyo!
Tuli eno abaddu bo
Tutoba n’ensi naye bwebityo
Ebirungi byotuwa nga bingi
Tusiima bwongerwa
Y’ate tunaddukira w’ani?
Kati tusabayo torch
Emulisa emyoyo gy’abantu
Mbeere nga mmanyi
Gwe nseka naye
Kyandaga ku maaso ky’ategeeza
Omulungi ne mmulaba
Torch endage abalabe bange
Ayi Mukama
Torch beeriswaza bangi nnyo
Olivaawo oyize emyoyo gy’abantu
Kooligimulisa mu bantu bo
Olivaawo oyize ensi
N’ekyo ekisa ky’okola
Ogenda kukyevuma
Ayi taata otuyambe
Otuweereze torch ayi taata waffe
N’abalabe tuyita nabo
Tetumanyi oba omutuufu y’ani?
Ggoonya ebikkula mannyo kungulu
Naye ng’egenda kutta
N’eyalyamu Yesu olukwe
Yakoza naye mu kibya ky’ekimu
Mazima omwana wa Maria
Tebamutya baamwefuulira!
Ate nz’ani ayi Mukama?
Ayi Mukama
Torch beeriswaza bangi nnyo
Olivaawo oyize emyoyo gy’abantu
Kooligimulisa mu bantu bo
Olivaawo oyize ensi
N’ekyo ekisa ky’okola
Ogenda kukyevuma
Torch beeriswaza bangi nnyo
Olivaawo oyize emyoyo gy’abantu
Kooligimulisa mu bantu bo
Olivaawo oyize ensi
N’ekyo ekisa ky’okola
Ogenda kukyevuma
N’okola bizineesi yo
Munno n’alaga nti asaba afune
N’omunyumiza ebizibu by’ofuna
Singa diiru eba esaze
Gwe osabirira kufuna
Nga ye asabirira bikusale
Singa torch ebaddewo
Omuntu bwatyo n’omulaba
Mazima waalibadde ova ku nsi eno maama
Kuba ayinza n’okuwa obutwa
Ayi Mukama
Torch beeriswaza bangi nnyo
Beeriswaza balibeera bangi nnyo
Olivaawo oyize emyoyo gy’abantu
Bwebatyo bo ssi bangu
Kooligimulisa mu bantu bo
Olivaawo oyize ensi
N’ekyo ekisa ky’okola ogenda kukyevuma
Wadde mu baagalana
Torch lwerijja
Bangi baliswala
Agamba I love you
So takwagalira ddala
Singa torch ebaddewo
Walibadde omwesonyiwa, naye maama
Tusula n’emisota mayumba
Kubanga tetulina torch
Ayi Mukama
Torch beeriswaza bangi nnyo
Torch beeriswaza balibeera bangi nnyo
Olivaawo oyize emyoyo gy’abantu
Eeh bwebatyo bo ssi bangu
Kooligimulisa mu bantu bo
Olivaawo oyize ensi
N’ekyo ekisa ky’okola
Ogenda kukyevuma
Abo be bantu baffe
Torch beeriswaza bangi nnyo
Torch beeriswaza balibeera bangi nnyo
Balibeera bangi nnyo
Olivaawo oyize emyoyo gy’abantu
Bwebatyo bo ssi bangu
Kooligimulisa mu bantu bo
Olivaawo oyize ensi
N’ekyo ekisa ky’okola
Ogenda kukyevuma
Balibeera bangi nnyo
Torch beeriswaza bangi nnyo
Eh baliswala bangi nnyo
Olivaawo oyize emyoyo gy’abantu
Bwebatyo bo ssi bangu
Kooligimulisa mu bantu bo
Olivaawo oyize ensi
N’ekyo ekisa ky’okola
Ogenda kukyevuma