Tondeka kugenda kuddayo eka
Ayi Mukama nga bwe nzize leero
Tondeka kugenda kuddayo eka
Hmmm nedda daddy, jangu eeh
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Tondeka kugenda mukwano gwange
Leero nzize gyoli
Tondeka kugenda kuddayo eka
Yesu wange, Kabaka wange
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Katonda wa ba jajjange Ibrahim
Yisaaka wamu ne Yakobo gwe mpita
Tondeka kugenda kuddayo eka
Tondeka munnange
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Wulira entunnunsi z’omutima (tondeka aah)
Zimbwatuka tondeka ssebo
Tondeka kugenda kuddayo eka
Kabaka wange
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Wulira eddoboozi ly’Omufirisuuti lireekaana
Golokoka jangu onwanire
Tondeka kugenda kuddayo eka
Kabaka, Yahweh
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Nze tondeka kugenda nga bwe nzize
Nzize gy’oli nantameggwa wange
Tondeka kugenda kuddayo eka
Magulunnyondo, yeah eh
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Yiii tondeka kugenda kitange (tondeka)
Yeggwe yampita mu nsi eno ennene
Tondeka kugenda kuddayo eka
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Wulira entunnunsi zange zibwatuka
Olw’amabanja n’okweraliikirira nnyamba
Tondeka kugenda kuddayo eka (nnyamba)
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Bwe nali nkaaba mu buliri Kabaka
Gwe wambikka n’oŋŋumya jangu
Tondeka kugenda kuddayo eka
Tondeka ne leero kabaka wange
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Yesu wange ebinsobera
Byonna mbireeta (byonna)
Ne leero ntuuse, nze tondeka
Tondeka kugenda kuddayo eka
Geyeena ngitya
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Mukama mu geyeena sirinaayo kifo (Mukama)
Yesu tondeka mu nsi eno wafuuka Yahweh
Tondeka kugenda kuddayo eka
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Amaziga mangi ge nkaabye munnange
Yesu wange kale tondeka
Tondeka kugenda kuddayo eka
Wulira olwaleero nga nkaaba
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Omutima gwange gusinda, gukunoonya Mukama
Ndeese n’abaana, awamu n’omwami wange
Tondeka kugenda kuddayo eka
Mukama ka mbe awo wooli
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Walabikira Musa ng’ali ku lusozi
Bimusobedde nange jangu
Tondeka kugenda kuddayo eka
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Mu ddungu mbaddeyo Mukama
Ne ku lusozi mbaddeyo Kabaka (tondeka)
Yonna ŋŋenze ntuseeyo nkunoonya
Tondeka kugenda kuddayo eka (tondekaaa)
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Mukama, Katonda wa Babirye
Yammanya Babirye
Mu lubuto lwa nnyabo
Ssebo tondeka Mukama
Tondeka kugenda kuddayo eka
Ayi Mukama nga bwe nzize leero

Mukama tondeka (nviiraayo)
Tondeka (nviiraayo)
Eh Yesu nviiraayo (nviiraayo)
Yesu nviiraayo (nviiraayo)
Mukama ekimala kimala (nviiraayo)
Abalogo laba nga bannoonya (nviiraayo)
Ab’emmundu nga nabo bannoonya (nviiraayo)
Abasamize baabo bannoonya (nviiraayo)
Ab’ebikolimo baabo bannoonya ooh (nviiraayo)
Ooh oh oh (nviiraayo)
Sangula amaziga gange (nviiraayo)
Sangula amaziga ga maama (nviiraayo)
Mponya obusungu bwa taata (nviiraayo)
Mponya ebitambo bya taata (nviiraayo)
Yeah eeh eh (nviiraayo)
Yesu nviiraayo (nviiraayo)
Mukama nviiraayo (nviiraayo)
Taata nviiraayo (nviiraayo)
Njagala onviireyo (nviiraayo)
Yesu njagala onviireyo (nviiraayo)
Yesu olere Nana wange (nviiraayo)
Lera abaana bange (nviiraayo)
Lera Mbabazi wange (nviiraayo)
Lera Chris wange (nviiraayo)
Lera Ethan wange (nviiraayo)
Laba laba George (nviiraayo)
Nderera Eva ne Jane (nviiraayo)
Nderera Stella wange (nviiraayo)
Nderera baganda bange (nviiraayo)
Nderera bannyinaze (nviiraayo)
Nkaddiwe, ndabe ku bazzukulu ooh oh
Nviiraayo

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin