Baliwa Mukama baakoledde ebingi, baliwa?
Baakoledde ebinene, muliwa?
Muyimuse emikono tugibale
Waliwo abatagirina
Teri mukisa mutono ku nsi
Buli kimu ndaba kya bbeeyi
Bwoba nga tonakutuka wire
Wandibadde osinza

Teweerabira
Mukama by’akuwadde by’ebingi
Teweerabiranga
Siima Mukama teweerabira

Buli omu amupimira nga bw’ayagala
Kubanga y’amanyi
Manya amaaso nebwakuwa amanene
Tegaliwa tulo
Eby’obugagga by’ofunye wano ku nsi
Ebitalina alina
Akuwadde n’akukkusa obulamu, uh
Akufudde ow’ettendo ow’ettutumu
Laba ebitiibwa by’ofunye okira abangi
Abalala bye beegomba
Mukama abikuwadde

Teweerabira
Mukama by’akuwadde by’ebingi
Teweerabiranga
Siima Mukama teweerabira

Mukama baakoledde ebingi
Teri mukisa mutono ku nsi
Gwe gw’awadde n’akkusa obulamu
Gwe gw’ayambye n’akuumira ezzadde
Okkuwa obugagga n’emmeeme ematira
Teri mukisa mutono ku nsi
Teri mukisa mutono ku nsi

Teweerabira
Mukama by’akuwadde by’ebingi
Teweerabiranga
Siima Mukama teweerabira

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *