Lutalo
Nabonaabona nnyo nnyo
Kuva lwe nayingira mu nsi
Nga mu by’okulya muwogo gwe manyi
Mbu nazaalibwa n’ekintugumbula
Era maama takakasa oba ddala yenze
Ataava ku kitanda mu buto!
Mbu namalako emyezi mukaaga
Nga ntemya butemya bwenti siwummuza
Abasawo ne bagamba nnemye
Ne taata gye yali akola
Omulimu gwaggwaawo n’atuuyana
Abakulu n’abato maziga kwetukeerera
Seeyagala mu buto bwange
Era ne bwe mbadde nkula
Nga lwe nkeesa maama lwe mbala
Nga ntunda tunda bundaazi
Taata bwe yasiikanga nsome
Tufune n’ezakamere ewaka
Ng’olumu babubba bambi
Ne nkomawo nga maaso ge nteze
Muzeeyi n’ankaliga obuti
Mu bugoye obusensufu
Ng’empewo bw’ezze era bw’empitamu
Nava wabi nnyo nnyo oh
Mukama olina amaanyi oh

Both
Tewali nnaku ya lubeerera
Ku bye ndabye bwentyo bwe ŋŋamba
Kasita weesiga Mukama
Obaako n’emirembe
Tewali nnaku ya lubeerera
Ku bye ndabye bwentyo bwe ŋŋamba
Kasita weesiga Mukama
Obaako n’emirembe

Bugembe
Hmmm! Owa!
Mukama olina amaanyi!
Hmmm! Owa!
Mukama olina amaanyi!
Nzijukira e Masaka mu kyalo
Twali buto nga tuzannya
Ki kawumpuli gye ky’ava simanyi
Kifuule ewaffe eddwaniro
Oyo mummy lwamutwala
Ne daddy lwamutwala
Ne buto bwange obutalina ttaabu
Yiii nabwo lwabulya
Twasigala tutyo ttayo
Awatali muzadde alabirira
Ne nsigala nga mpuuna buwuunyi nti owa!
Eyalwala siriimu yali omu
Y’eyasiiga ennyumba yonna
Hmmm! Dawudi mbuuza nti atya?
Empiso y’ewaka yo yali emu
Gye bafumba bakubisa omulala
Twali baavu ebyo bwe mbijjukira hmm hmm
Naye waliyo Katonda
Asobola okyuusa embeera
Kati laba nzuuno nnyimba ne Dawudi
Mukama olina amaanyi

Lutalo & Bugembe
Nkuyita ssebo
Katonda nannyini nsulo
Omutemi w’amakubo
Oh hoo oh oh
Ne bw’oba ku zero
Mwekwate mulwanyi wa ntalo
Alikufuula hero
Musabe
Addamu essaala zaffe (zaffe)
Muyita musumba wange (wange)
Katonda wa taata wange ne mmange
Kati nno munnange nkugamba
Ofune eky’okkola ogezeeko
Webikalubye obikwase Katonda
Kabibe bigumu Yesu abigonza

Abigonza
Yadde tolina biwaawatiro
Yesu alina amaanyi
Ajja kkuwa ebiwaawatiro
Obuuke hmmm
Olinoonya abaasekanga (abaasekanga)
Abaajerega abeeyita abalogo (abaaloganga)
Ggwe siga nsigo ozifukirire
Olinde olinde
Ennyumba yo eriba ya mukisa (ya mukisa)
Olisanyuka ne bw’oliba e Mulago (e Mulago)
Musabe omukisa akufukirire
Oyimbe baswale

Teri teri teri
Oh oh mwesige
Teri teri teri
Muwe obulamu bwonna

Submit Corrections

One thought on “Tewali Lyrics – David Lutalo ft. Pr. Bugembe”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *