Olwana olutalo wekka
Kino abakulaba kale tebakimanya
Waliwo n’abakwesiimisa wooli
Nga balaba watereera
Otuula w’otudde neweesirikira
N’owunzika omutwe gwo mu birowoozo
Ne bwe wabaawo ekisesa gwe toseka
Kubanga olwana olutalo ku mmeeme
Tewali akutegeera
Teri agenda kukutegeera
Okuleka Katonda wo
Bw’omufuula omulwanyi wo
Ensi nebwetekutegeera
Tewali akutegeera
Teri agenda kukutegeera
Okuleka Katonda wo
Bw’omufuula omulwanyi wo
Ensi nebwetekutegeera
Ofuba olabe nga obikkako
Abakulaba babitaputa bulala
Waliwo nelwebisajjuka wooli
Olutalo nelweyongera
Ojula ofuneko gy’owummulira
Omaleyo akabanga nga tobalabye
Nebwobaviira olutalo teruggwaawo
Sso nga ne ku mutima muli oyokebwa
Tewali akutegeera
Teri agenda kukutegeera
Okuleka Katonda wo
Bw’omufuula omulwanyi wo
Ensi nebwetekutegeera
Tewali akutegeera
Teri agenda kukutegeera
Okuleka Katonda wo
Bw’omufuula omulwanyi wo
Ensi nebwetekutegeera
Weetisse bingi munda
Nga n’ebimu kw’ebyo bikutula omwoyo
Waliwo n’abakulwanisa bangi
Nga n’oluusi tolina musango
Ebizibu ebingi gwe by’oyitamu
Abasinga kale tebabimanya
Mukama eyakutonda y’amanya
Abeera okumpi akulwanireko
Tewali akutegeera
Teri agenda kukutegeera
Okuleka Katonda wo
Bw’omufuula omulwanyi wo
Ensi nebwetekutegeera
Tewali akutegeera
Teri agenda kukutegeera
Okuleka Katonda wo
Bw’omufuula omulwanyi wo
Ensi nebwetekutegeera
Tewali akutegeera
Teri agenda kukutegeera
Okuleka Katonda wo
Bw’omufuula omulwanyi wo
Ensi nebwetekutegeera
Tewali akutegeera
Teri agenda kukutegeera
Okuleka Katonda wo
Bw’omufuula omulwanyi wo
Ensi nebwetekutegeera