Nantume
Wansanga mu kibuga Kampala
Ojerega ennyumba mwe nsula
Ojerega emmotoka gye nvuga
Onjerega naye nga tommanyi
Onkyawa onkyayira bwereere
Onsooze onsooleza bwereere
Mesach Semakula yandaba
Nga ndi musiiwuufu baabuwe
N’ansabira essaala neenoga
Katonda n’annyamba ne ndoka

Both
Okyawe onkyayira bwereere
Eh Onkyayira bwereere
Onsooze onsooleza bwereere
Ah onsooleza bwereere

Both
Nze neesiga Katonda wange
Wamma, talemwa talemwa talemwa
Ngirimula ssaala zokka
Wamma, talemwa talemwa talemwa
Ne bw’onvuma nze sikuddamu
Wamma, talemwa talemwa talemwa
Nze neesiga Katonda wange
Wamma, talemwa talemwa talemwa
Era ngirimula ssaala zokka
Wamma, talemwa talemwa talemwa
Ebintu by’okkolima byannema
Wamma, talemwa talemwa talemwa

Nantume
Nantume y’ani ne mba n’emikwano e Kampala?
Nantume y’ani ne mbaayo n’omuntu ampalana?
Nantume y’ani omunafu alinga ng’akatiko?
Obuuzanga maama mu kyalo
Kuva buto nga simanyi kuyomba
Obuuzanga taata mu kyalo
Nga ne ku luzzi simanyi kulwana
Onkyawe onkyayira bwereere

Bugembe
Eh abantu abamu kiiso kya mbuzi
Kilekerera omussi
Oyo akukyaawa ng’omuviira
N’omukwasa Katonda
Bw’ondogaaloga nga nkuviira
Ne nkukwasa Katonda
Abantu bakyayira bwereere
Ne Mukama omunyiiriza bwereere
Ng’abantu be owalana ba bwereere
Ku bwereere
Ossiza bwereere gwe

Both
Katonda ntaasa abantu ab’enkwe gyendi
Oteeke olugo olw’amaanyi ku nze
Future y’abaana bange
Entuuyo z’emikono gyange
Katonda tonsuula kye nsaba beera nange
Obeere oluzzi oluteefu kwe nywa
Njagala nkusumbuwenga
Ng’okkakkanya abalabe bange
Paasita nsabira mbeere bulungi

Bugembe
Ku musaalaba e Gologoosa
Ebisumbuwa byonna twala
Yesu gye yafiira
Endwadde zo zonna twala
Ne Mayinja mugambe
Ŋŋambira Semakula abitwale
Abalwadde bammwe abayambe
Yesu gye yafiira
Bizibu byo byonna twala
Bisumbuwa byonna twala
Endwadde zo zonna twala
Ku musaalaba e Gologoosa
Mu Luswayiri Goligotha
Mu Luganda Gologoosa
Mu Lusoga ssinakiyiga
Ekikulu Gologoosa
Ku musaalaba e Gologoosa

Onkyawe onkyayira bwereere
Wamma talemwa talemwa talemwa

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *