Intro
Mukwano mungi Batista munnyambe
Manager Kendrick naye eyo mumugambe
Producer JB mwana oli muwambe, haa
A Kendrich Management

Hook
Sweet Love, sweet love
Nnyamba sweet love

Verse 1
Kano kapya dear cinema yaakatandika
Gwe gamba muno n’oyo agambe gundi tandeka
Mmotoka bwegaana okutandika nga nsindika
Bw’onteeka mu fight nze nkuleega n’enkaka
Ka deemu kangambye nfaanana abamerika
Kampaanawaana lwakuba manyi okumenyeka
Tekamanyi ntino ndiko emizimu gy’ekika
Bw’onteeka mu kazannyo nakagundi kaabika
Kyokka nabadde saagala gwe wanzijje ewaka
Tutuuse mu kidongo oyogera tosirika
Tandika
Akagundi kaako yambuka
Ne uber tezituleka
Tuvudde mu kutalika
Eno beat si ya kwepika
Yoh, ebyaana binfata
Nze sibifaako nafuna gwe awooma ng’amata
Koona dance tuzine, mukwano oli better
It’s your boy Elbatista

Chorus
Sweet love (sweet love baby girl oo)
Sweet love (bali nabaleka mu kyalo)
Nnyamba sweet love
(Nkusaba dance go down low)

Verse 2
Kano kapya dear ka beat ko tekabowa
Kasuula n’ebigwo naye tetukakoowa
Omugongo gunnuma mukwano nyweza topowa
Laba n’oli adigida achakala ng’abambowa
Bwonesabya mic nze sijja kugikuwa
Omala kundaga malwedhe bwe bagizina
Simanyi Madhubala Indibhala byona bifaanana
Stoke ze nina zikambwe ate towakana
Bwe nkangula eddoboozi leeta yellow banana
Gwe osula Kireka Banda nze nsula Nansana
Tandika
Akagundi kaako yambuka
Ne uber tezituleka
Tuvude mu kutalika
Ma baby ndi mulwadde
Oli biki dear nze binsobedde
Nkulowoozaako dear nsula nga ntude, yoh

Chorus

Verse 3
Buli bwondekawo baby girl I feel so low
This ah sweet love don’t dare go slow
Ngamba nti bali wabaleka mu kyalo
Era ku dance flow nkusaba go down low
Baby yoo, nkuliyo
Ka message ku simu yo
Ndi bibyo, balifala mwana nabasalayo
Ate ne mbalekayo, nkusoma nga Bio
Haaa…(baby) njagala love yo
Elbatista

Chorus

Hook
Sweet love, sweet love
Nnyamba sweet love

Outro
Yongezaamu ku birungo sweet Nikita
Koona dance nkusaba nyweza totta
Nzeno nakolamu mwana buuza Christa
Yeah, a Kendrich Management

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *