Oliwa Stellah? (oliwa?)
Komawo tunoge amapeera (oliwa?)
Sama Sojah (oliwa?)
Chemical Beats na na na

Amundabiddeko Stellah mugambe nfa
Okuva lweyagenda sefeelinga
Nasigala awo bwentyo nga neebuuza
Ani eyasigula Stellah eyamwerabiza?
Munoonyezza e Ntinda (tewali)
Munoonyezza e Mbale eyo (tewali)
Munoonyezza e Mbarara (tewali)
Karamoja natuuka dda (tewali)
Eh yo Stellah
Mutima gwange tegulikukyawa

Kyakuwa mbu yakusanga ku kisaawe e Kenyatta wandiba wafuna akalimu
Oteranga n’oddako eno nnyabo (nnyabo)
Nsuulira omwoyo obw’olumu (nnyabo)
Nze amapenzi gannuma simanyi kyakola ninga omulwadde kanzunzu
Oteranga n’oddako eno nnyabo nsuulira omwoyo obw’olumu

Herbert Skillz gwebawaana

Munoonyezza e Ntinda (tewali)
Munoonyezza e Mbale eyo (tewali)
Munoonyezza e Mbarara (tewali)
Karamoja natuuka dda (tewali)

Stellah maama ambuuza nti nno wadda wa naye kale neneebuzaabuza
Ntya nnyo tandowooleza nti nakubonyabonya empisa nezikunnemya
Stellah taata ambuuza nti nno waddawa baby naye omumwa negwesiba
Ntya nnyo okwogera ebigambo tebirinsimattuka amagezi negatanjuna
(Gano amagezi negatanjuna)

Naye oliwa naye Stellah? (oliwa?)
Komawo tunoge amapeera
Wadda wa ennaku zino nnyabo? (oliwa?)
Obeera wa naye Stelah? (oliwa?)
Komawo tunoge amapeera
Oliwa maama mbuuza? (oliwa?)
Wadda wa naye Stellah? (oliwa?)
Akawoowo ka Stellah (oliwa?)
Kandi ku pillow nkawulira (oliwa?)
Waddawa naye Stellah? (oliwa?)
Zion K naye akubuuza (oliwa?)
Ffe tetukyebaka
Komawo ewaka
He he he
Lyrical Senator you know

Submit Corrections

Leave a Reply

Protected Content, contact Admin