Nasuze njala ewange
Ennaku ennuma
Mwezi gwakusatu noonya mulimu
Nagwo gwabula
Nkeera ku makya aah
Ŋŋende mu kibuga eri
Ngiiye obulamu, ng’omusajja bw’abeera
Ntambuza kigere
Ppaka mu kibuga
Bwe nkoowa nga ntuula
Amagulu gaweweere
Mba ntudde lumu
Mmotoka kwe kupaakinga
Ne bampita nti Twina
Jangu tukutwaleko
Naye, mugagga ki ono ammanyi!
Amanyi erinnya lyange
Kwe kusembera mmulabe
Nga y’ono
Bwe twali obubi ffenna
Bwe twasabanga
Yalaba ntidde kwekuŋŋumya
Nti Twina guma
Manya…
Ssi bya kyaama
Yesu by’akola (hmmm)
By’akoledde abantu be
(by’akoledde abantu be)
Ajja kubikkolera (oh, oh)
N’emikono ebiri
Ampambaatira (manya)
Ssi bya kyaama (ssi bya kyaama)
Yesu by’akola (gwe akaaba guma aah)
Ssi bya kyaama (sirika ogume)
Yesu by’akola (mukoowoole)
By’akoledde abantu be (gwe mukoowoole)
Ajja kubikkolera (asobola gy’oli)
N’emikono ebiri (asobola)
Ampambaatira (manya)
Ssi bya kyaama (ooh)
Yesu by’akola
Namulaba akaaba
Ffenna tetwali bulungi
Yesu gwe yakyalira
Kati ali bulungi yeyagala
Lwakuba yasooka eri
Naye atambula
Kati ajja eyo gy’oli
Mukoowoole
Ewange byagaana
Nasigaza kutunula nge byakola
Nedda akwagala
Tasosola mu baana be
Kimanye…
Ssi bya kyaama (nedda)
Yesu by’akola (ooh oh)
By’akoledde abantu be
(by’akoledde abantu be)
Ajja kubikkolera (hmmm)
N’emikono ebiri (nange)
Ampambaatira (manyi)
Ssi bya kyaama
Yesu by’akola (gwe akaaba guma)
Ssi bya kyaama (sirika ogume)
Yesu by’akola (mukoowoole)
By’akoledde abantu be (gwe mukoowoole)
Ajja kubikkolera (asobola gy’oli)
N’emikono ebiri (asobola)
Ampambaatira (guma)
Ssi bya kyaama (ooh)
Yesu by’akola
Ky’ogamba luliba lumu?
Nange mbeeko obulungi? yee
Nzimbe ku nnyumba? wewaawo
Nkomye okupangisa? Mukama abisobola
Abaana bange nabo
Bagendeko ku ssomero? yee
Awatali kutya? wewaawo
Nti ate fiizi tewali? Mukama abisobola
Nfune omulimu omulungi?
Nsasulwe bulungi? yee
Nzimbe ennyumba? wewaawo
Nvuge ku mmotoka? Yesu abisobola
Ky’ogamba luliba lumu?
Nange nkomye okukaaba? yee
Nseke ku nseko? wewaawo
Nga bano abalala? Yesu abisobola
Abaana bange nabo
Babeereko obulungi? yee
Bambale bulungi? wewaawo
Ne mukyaala wange? Nabyo abisobola
Ky’ogamba luliba lumu
Nange nkomye okukaaba? yee
Mbeeko obulungi? wewaawo
Nseke ku nseko? Mukama abisobola
Yee, wewaawo (oooh)
Bw’aba y’akola eri
N’ewuwo asobola (asobola)
Maama guma, taata guma
Manya aah (yee)
Nti oyo eyakola eri
N’ewuwo asobola (asobola)
Yee, wewaawo
Bw’aba y’akola eri
N’ewuwo asobola (asobola)