Abaakuwaana luli nti ogezze tonyiiganga
Nga bagambye okozzeemu noonya tuta owuute

Abammanyi obukuumuufu yenze luli
Bumukkuba emyenye ebitulika bye mbadala
Laba nkomyewo Waalu tuttunke
Ndagaano gye nakola nammwe era tekyukanga
Sirikoowa kubaako bye ndeeta
Guno omutwe seetisse bokisi z’amanda
Ne bwe ndiba ndi ku buleegane
Hmm ndisiba amagulu engogo era waakiri ntuuke
Mulinkakasa ŋenze watalinnya adda
Kabe kasinge n’obutaddawo balintuuka
Ky’amazima ng’agula essowaani omusezi
Nti za kuliirako eyo bantu bange eka
Amazima sirigatuulako ekyo kandayire
Atya amasasi eby’okuyingira amagye bye yesonyiwa
Buli we nnengera olumbugu we nkabala
Ky’ekinkeezanga mbake Chapa Goonya
Nze sirina ekirungi gwe nvuganya
Nnyimba bwongo n’omutwe bye gw’aloose
Mukama ezinunula omunaku
Lengera enjuba olwebakayo ng’ate ye lwatuula
Ab’amaalo liba ggwanga saalisenzeeyo
Beewaayiriza ng’eggunju ly’ettulu
Omanyi eggunju ly’ettulu teryepanse
Okulabya erimu nagwa kabenje oh
Ye mbeera kuba ng’abiri ge ndabisa
Mbadde ne nnyini nkoko okuleeta gwe nsooka
Atantegedde bwentyo bwe nkulese
Ndi kigere kya mbogo ebiseera ebisinga weeteba bakyepimamu
Luli mwaneewuunya
Nemweraguza nga mbu bwe sirizzaako
Mmwe mwalowooza ku nze mwasagaasagana
Ng’akabiriiti akatooleko Wambwa tayigga ngo
Walukagga ndi mulanzi gwotalizzaawo
Nze n’entalo nazivaamu amakulu ge nkamuka

Ssentebe w’ekizinga kyaffe, wuuwu?
Ssebo ssentebe waffe
Nabadde mu tulo ssentebe waffe
Malayika ya Mukama n’ejja n’entuma nnyimbe
Omanyi Omukama bwatyo bw’alabika
Omuntu mwe yeyolekera abeera tafaananika
Bw’onyooma bye nkugamba entebe yandiyita
Ssentebe ate mu myagaanya gy’engalo ekunte
Yantumye ggambe nti akakiiko ko ako kafu
Ssentebe waalisituse n’ojja ddala mu bantu
B’otuma bakoma mu kkubo mbu
Ne bajja bakumatiza nti aah kiteredde eri
Mazima abaakakulonda jjo ly’abalamu
Beegugunga batya nti ate ssentebe agende!
Abo abakutuukirira bantu babi
Bakwagala naye tebakwagaliza
Omutaka bw’alwa ku kitundu kwata bye nnyimba
Enkuba amanya w’eva ekyo kkiriza ogaane
N’ennyanja okuggwamu eby’ennyanja kankulage
Goonya keryogera towakana gy’ebeera
Kati ssentebe amagezi ge ndeese
Lwolikeera n’oyitaayita mu baakulonda lumu
Ogenda kkakasa nti nze ate
Nkwagala nnyo n’abalonzi bo mukwatagane
Abekalakaasa abo yita
Gwe kennyini obabuuze lwaki nti bacankalanye?
Ako akakiiko ko Chair okayiwe
Ssentebe bwotaakikole akalulu kaffe mmye
Okusinziira ku bya malayika bwe nteesa
N’ebintu by’osuubiza ofeeyo birondoolwe
Ne bye waweereza emyaka musanvu emabega
Njagala nkukakase nti tebituukanga
Gy’okomye okubeesiga ennyo gye batuusizza
Nabo okugenda mu maaso nga bwe bakwonoona
Musajjawo ono Lukka baana ba Kintu
Yabba emwanyi zo kizinga naatafiibwako
Ne gye yazitunda waategerekeka
Gwe kyokka n’owakana nga bwe baamuwaayiriza
Abalimi bo kizinga baagayala nabo
Olw’ebbeeyi y’ebirime ebeera tetegeerekeka
Gwe ate ekkakkana nga bw’erinnya!

Situka weekwatire mu bintu
Wano buli kintu kyo kizinga kyatawaanyizibwa
Nsaba okoowoole abecangacanga lumu
Mulimu ab’ebirowoozo ate nga beweetaaga
Kulwobulungi bw’ekizinga kyaffe bawe
Omukisa oyogereko nabo nze bwe nteesa
N’emirembe gye walwanirira oleete
Saagala kugirengera nga gikunukidde
Nsuubira ssi bukulembeze bwe betaaga
Bagamba baagala nkola chairman ekyuke
By’ebirowoozo bye nfunye eyo gye mpita mu bantu
Saagala ogambe nti wakakibwa oteese
Mbu ne Ssaabazinga wamusuulirira
Sso ng’asiibye enjala Abazinga lw’aba wa kujja

Ssentebe abalonzi bo bakukkuluma
Mbu osuubiza notatuukiriza
Mbu bakulaba mawenja ga kalulu
Basabye n’akakiiko ko okayiwe
Mbu ne Ssaabazinga ekyapa akirina
Wamwekutulako munyiikaavu
Mpozzi ow’ebyokwerinda y’akoze omulimu
Ssentebe ewalala bubbi busa

Buli lw’omira by’oba olina Chair ofujje
Nze ndaba nga birwadderwadde by’oyigga
Siri nze munabyabufuzi yadde naye
Ndi mutuuze wo kizinga era nga kwe nzaalwa
Enswera ekwagala ku bbwa
Sirina nze ludda ndaba bulabi bintu bwe bitambuzibwa
Ttiimu y’endiba eyali kuno ho!
Eyali luwangula kati etava mu bibinja eh!
Waleeta mutenzaggulu amaato gatudde wali
Abavubi asengula n’ebizimbe bw’abidima
Singa nze nali nkuwa amagezi ssentebe
N’abakuyuuya bankabadde baatereera dda
Laba bwe nkulaga nti amagezi ga mu mitwe
Kugejja kwannema ne negaziyira mu bwongo
Kankujjukizeeyo olubiri
Ssekabaka Muteesa mwe yali nga ye Mwenye
Abantu baamukoowakyawa
Nga ke kakutanda n’omunenya ey’ewuwo lw’evuunikibwa
Yali muyimbi wa mu lubiri omwo lumu nga nze
N’ayimba nti obutateesa olamaga
Mangu nnyo n’ababuuza era ne boogera
Lw’amanya ne be yatuma nti tebatuukanga
Mukaabya okuva lwe yasituka ateese
Olubiri terwalaala bulaazi lwayakaayakana
Laba eyali mukaabya bantu luli
N’atuumwa Muteesa Chair gira oteese
Bwonokola nga bwe njogedde tolinyeenyezeka
Mbadde namunyeenye atalangalanga bifu
Ndi muzzukulu wa Kabazzi Kyango gye nsibuka
Ssebunnyo bwa ssota Kabaka awangaale!

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *