Ssakramentu ettukuvu
Yezu lye yekweseemu
Tulisinze n’okutya
Wamu n’okulyagala
Eby’edda byo byaggwaawo
Kino ky’ekitambiro
Yezu kye yaleetera
Bonna abamukkiriza
Bwali budde bwa kiro
Kumpi ne Kalvariyo
Yezu lwe yasiibula
Abatume abaagalwa
Omugaati gw’addidde
Gw’afuula omubiri gwe
Omukama gw’abawa
Mulye ku kino mwenna
N’ekikompe bwekityo
Bonna baakikombako
Ne banywa omusaayi gwe
Nga bwe balya ennyama ye
Ebyo nga bikoleddwa
Awo n’abakuutira
Kino mukikolanga
Mwenna okunzijukira
Ye mu Konsekrasio
Yezu mweyeweerayo
Era ne mu komunio
Tumufuna bulijjo
Mujje gyendi mwe mwenna
Mujje mwe abategana
Mujje n’abagumyanga
Ne mbatoowolokosa