Eh
Nkusiibula naye nga kulembeza okusoma
Ng’eyatuuzibwa ng’ogenda
Muzzukulu wa Nsamba
Eh
Nkukuutira bambi kulembeza okusoma
Ng’eyatuuzibwa ng’ogenda
Muzzukulu wa Nsamba
Eh
Gwe mwana wange
Soma
Tozannyisa kkalaamu
Soma
Ggwe suubi lyange
Soma
Fiizi bwe nzitoola
Soma
Oli mmundu yange
Soma
Omujaasi wange
Soma
Tozannyisa kkalaamu
Soma
Fiizi bwe nzitoola
Soma
Mwana wange soma
Tozannyisa biseera (biseera)
Nange ebitabo bye bintagaza
Tolaba nzunga (nzunga)
Singa tekwali kuyimba
Nandikoze ntya oba! (ntya oba!)
Kuba guno omulembe
Atasomye tafuna kitiibwa (kitiibwa)
Kale watondebwa bulungi amaaso go malungi
Ensingo ya biseera
Olowooza onooba otya
Bw’onyweza ekkalaamu n’ogattako ekitiibwa?
Guno omulembe gwa mpapula
Atalina mpapula ebitaala bimukwata
N’emirimu gya bbula n’abagigaba
Bo basosola mawanga woo!
Eh
Ne bwemba nasuze bweru ku makya nkeera
Ku makya nkeera (nkeera)
Ka bbiya akawoomu nakeelesa
Ndabe ng’obuwanguzi obuleeta (obuleeta)
Abo abasajja mu ma Benz
Boogera luzungu nsaba oluzungu nyweza
Kulembeza Katonda ennyonyi tezikutiisa
Osobola okuzivuga (osobola bulungi)
I want you to win
To me you are my every thing
For you I can give up my salary
Pictures of you in my gallery
When you smile you bring me happiness
Nsaba Katonda anyongere ebiseera
Nange ndabe ku ky’onabeera
Oba musawo oba olibeera looya?
Oba oliba musambi w’akapiira?
Topapira biduula
Obutasoma ntaana
Bwotasoma emikwano gikuzalawa
N’owewuwo akukuuma akunyooma
Bwe muyomba
Ng’akusomera kkalaamu na kitabo
Eryo ffumu na ngabo
Y’alibeera looya wo
Ng’ensi ekwegaanye alibeerawo
Kale watondebwa bulungi amaaso go malungi
Ensingo ya biseera
Olowooza onooba otya
Bw’onyweza ekkalaamu n’ogattako ekitiibwa?
Guno omulembe gwa mpapula
Atalina mpapula ebitaala bimukwata
N’emirimu gya bbula n’abagigaba
Bo basosola mawanga abo
Nkusiibula naye nga kulembeza okusoma
Ng’eyatuuzibwa ng’ogenda
Muzzukulu wa Nsamba
Wololololo
Drusilla soma
Abba soma
Sinani wange nkusaba bambi naawe soma
Sky soma
Dinari Maisha nawe soma
Xavier soma
Nakato ne Wasswa
Sucker Free Boss
Team Good Music
Pallaso
Diggy Baur
Ooooh
Soma