Ekitiibwa n’ettendo bikuddirenga
Gw’eyatonda ensi eno ate era n’eggulu
Muyite Lugaba
Lugaba Mukama Lugaba, eh
Muyite Lugaba
Annunudde n’anzigya mu bunnya
Omuntu ava wala aah ava wala
Omuntu ava wala
Okutuuka ewala
Eno ensi etabuka aah etabuka
Eno ensi etabuka
Nga buli wodda ekunyiga
Ekisooka osoberwa
Abange osoberwa
Nga bangi basituka
Kyokka ggwe olemwa
Olwo ebibuuzo ne bitandika
Nti oba ye nze nalya ki?
Bingi n’obyebuuza
Naye Mukama namukola ki?
Sso nga ggwe b’osinga
Bo tobalowoozaako
Weebuuze bwe babeera
Oba ggwe olaajana!

Sso sinza
Sinza aah
Sinza
Kuba Mukama akwagala
Sinza
Sinza aah
Sinza
Weebaze obulamu bw’olina

Akaseera kajja, kajja
Akaseerako kajja, kajja
Akaseera kajja, kajja
Time yo gyeri, linda
Akaseera kajja, kajja
Akaseera kajja, kajja
Akaseerako kajja, kajja
Time yo gyeri, linda

Sso sinza
Sinza aah
Sinza
Kuba Mukama akwagala
Sinza
Sinza aah
Sinza
Weebaze obulamu bw’olina

Ntumira abalwanyi mu nsi
Abaayiga ebizibu by’ensi
Ne mubikwasa omutonzi w’ensi
Kubanga ye kamalabyonna (oh)
Beera omulwanyi mu nsi
Alwanyisa ebizibu by’ensi
Twabisanga mu nsi
Toggwaako emirembe mu nsi
Luliba lumu ne tuva mw’eno ensi
Baaba tolwana na nsi
Twabisanga mu nsi
Kimanye bintu bya nsi
Nsaba nnyo emirembe mu nsi
Mukama nsaba onsaasire
Nga bwe mba sitegedde
Munnange nsaba oŋŋondeze
Nkukwasa ensawo yange
Taata ongaziyize
Mpozzi n’abalabe bange
Yingira otaase
Busungu bakendeeze
Sirina musango mu nsi, wuuwi
Taata baŋŋondeze

Sso sinza
Sinza aah
Sinza
Kuba Mukama akwagala
Sinza
Sinza aah
Sinza
Weebaze obulamu bw’olina

Akaseera kajja, kajja
Akaseerako kajja, kajja
Akaseera kajja, kajja
Time yo gyeri, linda
Akaseera kajja, kajja
Akaseera kajja, kajja
Akaseerako kajja, kajja
Time yo gyeri, linda

Sso sinza (sinza)
Sinza aah (sinza)
Sinza (sinza)
Kuba Mukama akwagala (sinza)
Sinza (sinza)
Sinza aah (sinza)
Sinza (sinza aah)
Weebaze obulamu bw’olina (sinza)

Sinza
Sinza
Sinza
Sinza
Sinza
Yo, Buta Magical
Sinza
Sinza
Sinza

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *