Sinza Lyrics – Coopy Bly

Ehh eh
Hmmm oh na na
Hmm yeah

Obwongo bwasuze bunnyoola
Bigambo byasuze byesomba (byesomba)
Nga ndowooza oba leero mbiyimbye ntya?
Obukoola bwasuze bwewujja
Akaweewo kaasuze kakunta
Obunyonyi ekiro obukuuma otya?
Nze neewuunya n’eno ensi gye watonda!
Eggulu waliwanika otya eritagwanga!
Gwe laba gano agayanja aganene
Emigga gikulukuta tegikoma, aah

Twatondebwa kusinza
Teri kirala kusinza
Twatondebwa kusinza
Teri kirala kusinza
Tukusinza
Tukusinza
Nti Halleluiah Halleluiah Halleluiah
Tukusinza
Tukusinza
Nti Hosanna Hosanna Hosanna, eh

Nze olwaleero neewuunya
Mu bitonde byo ebyatondwa (ebyatondwa)
Omuntu lwaki y’asingayo okujeema!
Watulondayo otwetaaga (otwetaaga)
N’otutonda mu kifaananyi kyo
Kibi tetumanyi kusiima
Kati laba n’emiti gitusinga
Giwuuba amatabi gikutenda, ooh
Amayеngo eyo ku nnyanja gasinza (gasinza)
Gayimusa amaloboozi gayimba

Twatondebwa kusinza (okusinza)
Teri kirala kusinza
Twatondebwa kusinza (okusinza, kusinza)
Teri kirala kusinza
Tukusinza (tukusinza)
Tukusinza (tukusinza)
Nti Halleluiah Halleluiah Halleluiah
Tukusinza (tukusinza)
Tukusinza (tukusinza Yesu)
Nti Hosanna Hosanna Hosanna

Eeh eh
Na na
Eeh

Buli kitonde kirisinza
Ffe bwe tugaana
Amayinja galiyimba (eeh eh)
Nti naye ate bwe tusinza
Alisiima ebirungi alituyiira
Buli kitonde kirisinza (kirisinza)
Ffe bwe tugaana (ffe bwe tugaana)
Amayinja galiyimba (aaah eeh eh)
Nti naye ate bwe tusinza (nti bwe tusinza)
Alisiima ebirungi alituyiira (alisiima eeh eh)

Twatondebwa kusinza (kusinza)
Teri kirala kusinza (teri, teriiyo)
Twatondebwa kusinza (kusinza, kusinza)
Teri kirala kusinza
Tukusinza (tukusinza)
Tukusinza (tukusinza)
Nti Halleluiah Halleluiah Halleluiah
Tukusinza (tukusinza)
Tukusinza (tukutenda Yesu)
Nti Hosanna Hosanna Hosanna

Submit Corrections