Eno Beats

Oyagala nkuwe omutima
Oguzannye nga ttena
Bino ebiwundu ebinnuma
Biwonya anaabiwonya
Laavu tegulwagulwa olimba
Terina spare
Laavu togisange mu dduuka
Ky’ekimbeeza nga nninda
Omutuufu anansanga
Kisinga lwe nkakakaka omwoyo
Laavu kintu kya ngeri
Bwotagisengeka ekkosa
Omutima gwajjula amabwa
Kyenva ngukwekera ddala
Ebintu binyuma kale
Nga ne munno afaayo (afaayo)
Naye awatali care
Awo ka nfe obw’omu
Nakoowa laavu y’ennyondo
Ka mbe omu nze

Ndi single and it’s okay
Laavu tebagipapira eh yeah
Kasita ssi nze aba asoose
Ndi single and it’s okay
Ndi single and it’s okay
Laavu tebagipapira eh yeah
Kasita ssi nze aba asoose
Ssi nze aba asoose yeah
Uuh aaah ah

Nze kati omwoyo gwaguba
N’akaagala kaabula
Be naguwa baagutaagula
Be nali neesiga, uh
Kyetaaga nga gwe weetaaga naye akwetaaga
Binkooya, eby’amaziga ssetaaga
Kankite mu mwoyo mulungi
Mukama alimpa omwesigwa
Laavu yange nnyingi
Okugiwa atagasa mbyeresa
Omutima tebagugalabanja
Tebaagubumba mu bbumba

Ndi single and it’s okay
Laavu tebagipapira eh yeah
Kasita ssi nze aba asoose
Ndi single and it’s okay
Ndi single and it’s okay
Laavu tebagipapira eh yeah
Kasita ssi nze aba asoose
Nakoowa laavu y’ennyondo
Ndi single and it’s okay
Mwana wa munno
Omutadde ku nninga nze aah ah
Kasita ssi nze aba asoose
Ooh eby’amaziga ssetaaga
Ndi single and it’s okay (ooh)
Ndi single and it’s okay
Kasita ssi nze aba asoose
Ssi nze aba asoose

Zuena tebakugalabanja

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *