Grace Khan ky’ekyo
Love is a commitment
Henry Mwanje (hmmm)
Laavu ebeera sacrifice (hmmm)
Grace Khan
Mwanje
Okugwa mu laavu n’omuntu
Ekyo kye bayita to sacrifice
Ne weeresa ebirala n’otwala ye
Nga tolowooza mulala olowooza ku ye
Nga tomuswalira
Ne bwe bamukonjera, omuwakanira
Love is to be committed
Laavu ebeera commitment
Obeera so proud
N’oyo gw’oyagala
Ne bw’aba nga yakula atya
Nga yagongobala k’abe mulema
Omuwa byonna
Omutima n’ogumuwa gwonna, oh
Naye nga lwaki mukwano
Tondaga mu banno?
Bwe tuba abangi n’onkwekakweka!
Simanyi oba oyagala kunjagalira mu kaama?
Ebya laavu bwebityo, bitama
Njagala tukirage abantu
Bwe waŋŋamba oli single
Nakitwala so simple
Kyokka nga gwe ate ssi bw’oli
Mbulira, oba ng’onjagala mu kaama lwaki?
Lwaki wakkiriza nkukwane?
Ng’olina abalala?
Mwanje
Nkooye okunjagalira mu silence
Lwaki omutinga nga mu silent
Njagala laavu nga ya lwatu tonkweka
Nkooye okunjagalira mu silence
Lwaki omutinga nga mu silent
Njagala laavu nga ya lwatu tonkweka
Khan
Ebintu by’omutima obimanyi bwe guluma
N’omubiri guluma, gutendewalirwa
Ng’anti kyonna, wakiwaayo eri oyo
N’akufuula ttena
Akuzannyira mu mutima
N’ekisinga okutuluma
Be twagala ennyo be batulumya
Mukwano saagala maziga
Kimanye bangi bannumya
Njagala anyiga biwundu, biwone
Naye ate gwe, wali mulungi ate
Kati bino biki by’okola ng’onyiize?
Mbuulira, bw’oba ng’onjagala mu kaama lwaki?
Kulwaki wandibadde nze onkwana?
Ng’olina abalala!
Both
Nkooye okunjagalira mu silence
Lwaki omutinga nga mu silent
Njagala laavu nga ya lwatu tonkweka
Nkooye okunjagalira mu silence
Lwaki omutinga nga mu silent
Njagala laavu nga ya lwatu tonkweka
Both
Singa mukutukwana, mutugamba
Nti nkwagala, naye nkwagala bya mu kyama
Naye tewaŋŋamba nti olinayo
Olinayo akuwondera
Nange omubiri ne ngiwawo
Nga sisuubira mulala eyo
Naye, nga lwaki onkweka?
Bwe kiba kyama
Ŋamba nti nkuswaza
Nkute nfune, omulala
Both
Nkooye okunjagalira mu silence
Lwaki omutinga nga mu silent
Njagala laavu nga ya lwatu tonkweka
Nkooye okunjagalira mu silence
Lwaki omutinga nga mu silent
Njagala laavu nga ya lwatu tonkweka
Tactic