Talinywa, nate ku kikompe
Okutuusa lw’alituula naffe
Mu maaso ga Katonda
Saddaaka gye yawaayo Yesu etumala
Fenna etuggyako obutali butuukirivu munda
Lugendo lw’omusaalaba terwamugondera
Wabula yeewaayo okununula eyali abuze
Mu lusuku Gethsemane ng’asaba
Entuuyo ze nezivaamu amatondo g’omusaayi
Kitange, oba kiyinzika
Kikompe n’okinzigyako yali alaajana!
Si nga bwe njagala
Wabula bw’oyagala
Si mu kuteesa kwange
Wabula kuteesa kwo
Ekyo ky’oyagadde Katonda wange
Bwekityo kituukirire nga gwe bw’osazeewo
Si nga bwe njagala
Wabula bw’oyagala
Si mu kuteesa kwange
Wabula kuteesa kwo
Ekyo ky’oyagadde Katonda wange
Bwekityo kituukirire nga gwe bw’osazeewo
Ebikemo byeyayitamu bingi n’aguma
Omubi ng’alwanyisa nga tayagala nze ndokolebwe
N’amulengeza obugagga obusinga nti alibumuwa
Singa yeewaayo n’amusinza
Tokemanga Mukama Katonda wo
Yesu n’amutebuka kiri kituukirire
Ekyama ky’okulokola omuntu
Alinga oyo omuggya wa?
Eyeewaayo ku lwa mikwano gye!
Si nga bwe njagala
Wabula bw’oyagala
Si mu kuteesa kwange
Wabula kuteesa kwo
Ekyo ky’oyagadde Katonda wange
Bwekityo kituukirire nga gwe bw’osazeewo
Si nga bwe njagala
Wabula bw’oyagala
Si mu kuteesa kwange
Wabula kuteesa kwo
Ekyo ky’oyagadde Katonda wange
Bwekityo kituukirire nga gwe bw’osazeewo
Kimuluma bw’alaba omubi atudibaga
N’atufuula baddu be mu kwonoona
Kyokka nga yatuwa amagezi agatumala
Okwawula ebituufu, ku bulimba obulabika
Ye takaka, tatuwaliriza twesalirawo
Ekimuluma be yafiirira tebalokose
Mukama kye nsaba leero onsembeze
Onfuule ekikozesebwa ekyesigwa
Naye
Si nga bwe njagala
Wabula bw’oyagala
(Ky’oyagala kikolebwe)
Si mu kuteesa kwange
Wabula kuteesa kwo
Ekyo ky’oyagadde Katonda wange
(Ekyo kyokka)
Bwekityo kituukirire nga gwe bw’osazeewo
Si nga bwe njagala
Wabula bw’oyagala
(Ky’oyagala kikolebwe)
Si mu kuteesa kwange
Wabula kuteesa kwo
Ekyo ky’oyagadde Katonda wange
(Ekyo kyokka)
Bwekityo kituukirire nga gwe bw’osazeewo
Si nga bwe njagala
Wabula bw’oyagala
(Ky’oyagala kikolebwe)
Si mu kuteesa kwange
Wabula kuteesa kwo
Ekyo ky’oyagadde Katonda wange
(Ekyo kyokka)
Bwekityo kituukirire nga gwe bw’osazeewo
Ekyo ky’oyagadde Katonda wange
Bwekityo kituukirire nga gwe bw’osazeewo