Sekukkulu eyasookera ddala
Mu Bethlehem mu Buyudaaya
Abasumba bwe baali balonda
Ebisibo byabwe ku ttale
Malayika yajja gye bali
N’abagamba temutya
Mbaleetedde amawulire, ag’essanyu
Luno olunaku lwa kitiibwa nnyo
Ge mazaalibwa ag’Omulokozi
Yesu leero azaaliddwa
Tusanyuke era tumutendereze
Katufuuwe emirere
Tukube ebivuga
Tuyimbe ennyimba za Katonda
Tumutendereze
Tumugumulumize
Alleluia

Alleluia
Olunaku lwa kitiibwa
Tusanyuke anti
Yesu Kristu azaaliddwa

Luno olunaku lwa kitiibwa nnyo
Ge mazaalibwa ag’Omulokozi
Yesu leero azaaliddwa
Tusanyuke era tumutendereze
Katufuuwe emirere
Tukube ebivuga
Tuyimbe ennyimba za Katonda
Tumutendereze
Tumugumulumize
Alleluia

Alleluia
Olunaku lwa kitiibwa
Tusanyuke anti
Yesu Kristu azaaliddwa

Leka tusanyuke ku lunaku olukulu
Yesu omwana gw’endiga
Lwe yazaalibwa oh oh oh
Y’oyo Mukama
Alleluia

Yazaalibwa mu kisibo eky’ente
E Bethlehem
Eyo mu nsi entukuvu
Omulokozi
Alleluia

Yazaalibwa atulokole
Ffenna katuyimbe
Katumutundereze
Omusuutibwa
Alleluia

Yesu
Alleluia
Yesu
Alleluia

Luno lukulu bwekityo kikulu
Tulujjukirenga mu mitima ne mu bikolwa
Nga tumutendereza omwana wa Katonda
Yazaalibwa ku nsi kuno, atufiirire
Ffe tuwone ebibi!
Gwe nnyabo naawe ssebo
Mwana muto, mukulu mugolokoke
Tugende tusinze
Tukuyita Yesu jangu otusembeze
Gwe Musumba ow’ekisa
Leka tusanyuke ku lunaku olukulu
Yesu omwana gw’endiga
Lwe yazaalibwa, oh oh oh
Y’oyo Mukama
Alleluia

Yazaalibwa mu kisibo eky’ente
E Bethlehem
Eyo mu nsi entukuvu
Omulokozi
Alleluia

Yazaalibwa atulokole
Ffenna katuyimbe
Katumutundereze
Omusuutibwa
Alleluia

Yesu
Alleluia
Yesu
Alleluia
Yesu
Alleluia

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *