Kankubebbereze mpola
Ntuuke ku sacramento eno gye ngoba
Bampise kulaba bagole kandabe abagole
Saagala kuleeta mirerembe
Mirembe mwe ngyija okukuyita nkufune
Ka ŋume onsaalize
Special officer, sijja kweyonoonera
Nasooka kugamba twanjule
Sibitegeera by’owozaawoza
Ogamba linda, bukya nkulinda
Abaali mu emu bali mu bbiri
Eno ye sacramento enzita ensaaliza
Nandyagadde bambi, ngitwale naawe
Saagala onsubye

Eno ye sacramento
Eno ye sacramento
Gira gira emyaka giigino gidduka
Matrimony etugendako
Endala ze nasooka
Endala ziri mu maaso
Konfirmansio ne batisimu nazimala
Njagala matrimunyo

Bwe ntunuulira abagole bambi
Sikulimba muli nsaalirwa
Engeri gye bameremeenye
Mu ngoye zaabwe
Wamma neegombye obugole
Kye nvudde nsaba ebyange obinkolere
Tuloole bwetutyo
Ebya gumiikiriza, sijja kubigumiikiriza
Ekitono kye nagamba okole
Kinaaba oba ky’ekyakunyiiza
Nti lwonokyala omalenga kuŋamba
Ani gw’ogenda okukyalira
Mazima mbuulira oba nga kyekiikyo
Nkimenyeewo nkyerabire
Nalinga ng’ateesa, saateeka tteeka

Eno ye sacramento
Eno ye sacramento
Gira gira emyaka giigino gidduka
Matrimony etugendako
Endala ze nasooka
Endala ziri mu maaso
Konfirmansio ne batisimu nazimala
Njagala matrimunyo

Eno ye sacramento
Eno ye sacramento
Gira gira emyaka giigino gidduka
Matrimony etugendako
Endala ze nasooka
Endala ziri mu maaso
Konfirmansio ne batisimu nazimala
Njagala matrimunyo

Abanjogerako kaboogere
Mbu lwaki neesiba ku antawaanya?
Ku Kampala ono, akubyeko abawala
Ab’endiba enjooyoofu
Kababyogere batya nkweyagalira
Kababawaane batya gwe wange
Ndi kayanzi, ssiibuuke na nzige
Abadde aneesunga andeke
Ŋenze naawe olw’ensonga
Nkengeddewo mangu onooba mwesigwa
Gwe w’okuba namwandu wange
Yeggwe alizaala abaana bange
Yeggwe alikaaba okwekutula
Bwe lulintwala, ne ŋenda e Kaganga

Eno ye sacramento
Eno ye sacramento
Gira gira emyaka giigino gidduka
Matrimony etugendako
Endala ze nasooka
Endala ziri mu maaso
Konfirmansio ne batisimu nazimala
Njagala matrimunyo

Bw’ozindwanga obwavu mpita
Siireme kudduka mbiro kuyamba
Wooba onjagalidde oluggi lw’ewange
Luggule essaawa lukaaga
Manya omusirikale wo ssi mulala nze
Ekikulema sindika eno
Nkikole express, gwe nsaana okuyamba

Sacramento
Sacramento ha!
Sacramento
Sacramento
Ha hah

Eno ye sacramento
Eno ye sacramento
Gira gira emyaka giigino gidduka
Matrimony etugendako
Endala ze nasooka
Endala ziri mu maaso
Konfirmansio ne batisimu nazimala
Njagala matrimunyo
Konfirmansio ne batisimu nazimala
Njagala matrimunyo

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *