Hmmm
Tukwanirizza ku studio za Ttivvi yaffe
Ssebo omwagalwa w’abangi
Bulijjo bambuuza ebibuuzo ku gwe
Ko nze ndikuyita, obitwegambire
Wakola otya ofuuka kino ky’oli ssebo?
Wasala magezi ki ogatugambe?
Twakulaba wano ng’otandika
Bbanga ttono okyuse ssebo!
Eyali omwavu mpulira kati weevuga!
Oli bulungi, onyirira!
Wasala magezi ogatugambe?
Lwaki abantu bakweyuna?

Sabisaanira
Ooh bino bye nafuuka
Sabisaanira
No no, balala babanga bayamba
Sabisaanira
No no, balala babeera baasoma
Sabisaanira
Eeh

Kyali kisa, ky’ekyantaasa
Ky’ekyantaasa
Kyaka ng’enkuba, ku nze
Hallelujah, ekisa ng’enkuba kyatonnya ku nze
Hallelujah
Hallelujah, ebibi byange byanaazibwa
Hallelujah
Kisa ky’ekyanaaza nange
Hallelujah, natuuka, natereera
Ekisa ng’enkuba kyatonnya ku nze
My my kyali kisa
Hallelujah, kyali kisa
Ebibi byange byanaazibwa

Eyo bwe bulamu
Eno gye nava
Nange mbyewuunya
Mu katogo akangi, nafuuka omuntu
Natereera, mbyewuunya!

Sabisaanira
No no, balala babanga bayamba
Sabisaanira
Nze saalina
Balala babeera baasoma
Sabisaanira
Sirimba nze sabisaanira
Sabisaanira
Eeeh

Kyali kisa, ky’ekyantaasa
Ky’ekyantaasa
Kyaka ng’enkuba, oh oh, ku nze
Hallelujah, ekisa ng’enkuba kyatonnya ku nze
My my Yesu y’eyayamba
Hallelujah, eeh eh
Ebibi byange byanaazibwa
Yesu yandokola nze
Hallelujah, Yesu yantaasa
Ekisa ng’enkuba kyatonnya ku nze
My my yali Yesu wange nze
Hallelujah, My my yali Yesu wange nze
Ebibi byange byanaazibwa
Hallelujah, eeh
Ekisa ng’enkuba kyatonnya ku nze
Omwavu natereera
Hallelujah, omunaku, ndi bulungi
Ebibi byange byanaazibwa

Ng’enkuba bw’etonnya
Ensigo ezaafa ne zimera
Kisa kya Yesu nze kyantobya
Kwe kutereera
Gwe ogamba kiki ekyampisaawo awo?
Ooh oh, ebiro nga sirina ayamba
Ddala kiki?
Ddala kiki ekyampisaawo awo?
Abalala nga bakooye
Ddala kiki ekyampisaawo awo?
Ssente bwe zaabula
Ddala kiki ekyampisaawo awo?
Ani yayamba? Ooh oh oh
Ooh, ooh
Ooh oh oh
Ooh, ooh
Nzijukira lwe twakaabanga
Ooh, ooh
Nzijukira lwe twasindanga
Ooh, ooh
Tetwalina na ssuubi
Ooh, ooh
Kisa ky’ekyayamba
Kyali kisa
Kye kyantaasa
Kisa ky’ekyayamba
Kyali kisa, ooh
Hmmm kyali ekisa

Submit Corrections

5 thoughts on “Sabisaanira Lyrics – Twina Herbert”

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *