Saba Lyrics – Haruna Mubiru

Wasuze bubi
Era bambi muweddemu essuubi
Tewanywedde chai
Mbu era, muli
Temulina maanyi
Naye nze bwe ndaba
Oli yaddeyaddeko
Waliwo abataalidde mmere
N’abamu bali eyo ku bitanda
Alhamdulillah

Olwaleero nga bwe lugenze
Mungu nsaba n’enkya olukeese
Luyitirire, lubeemu ebirungi
Nsaba ontaase abalabe
Abanninze eyo makubo
Nsaba Mukama obaswaze
Nfune bufunyi kye njagala
Ntaasa endwadde ezitalina ddagala
Mungu nsaba onteeke mu abo
Abanaafuna enkya
Nsaba onfuule ow’eddembe, oh
Nsaba onfuule ow’eddembe, oh
Nsaba onfuule ow’omukisa
Nga nkola kitono nfuna kinene
Nsaba onfuule ow’eddembe
Ng’abanjinyisa ndaba balabe
Nsaba ongaziyirize, enfuna yange
Nzingaako olukomera
Onkuumire ebintu byange
Ababirinze bangi
Ba kiremya bangi
Naye ate sifaayo
Nga gwe Mungu w’oli

Ng’olemereddwa
Saba
Ng’edduniya ekutabuseeko
Saba
Emikwano gikuleseewo
Saba ooh oh saba
Ng’abakozi bagenze
Saba
Nga n’eŋanda zeefudde
Saba
Nga ssente ebasinzizza amaanyi
Ooh Mungu agaba awulira saba
Saba
Aba akuwulire gwe musabe
Saba
Ooh oh eh

Eno ensi n’ebigirimu bibyo
Okubeerawo kwayo yeggwe
Tulina kimu kusinzanga n’okutendanga
Ebibatu byo
Ebigabirira abo abatalina
Mungu nsaba onteeke mw’abo
B’osinga okwagala
Nsaba ontondemu omutima ogukutya
Mungu nsaba onsonyiwe
Ebinsobako ng’omuntu
Nsabira eddiini yange
Omuyaga ogulimu gukome
Ffe tusse kimu, kuba ddiini ya ddembe
Ayi Allah, saanyawo enkwe z’abo
Abalina obusungu ku bannaabwe
Bayige okusonyiwa
Ayi Allah, kakkanya emitima gy’abo batawankane
Kye balina, eno ensi tekungulwa

Abantu bakambwe ku bannaabwe
Ayi Allah
Eno ewaffe enkuba tekyatonnya
Ayi Allah
Obufumbo bwononese
Abaana badda mu bakadde baabwe
Eno ensi Uganda yattu
Allah giteekeko ekisa
Ettemu lisusse oh
Allah yamba
Allah yamba
Jah Kareem
Ssa ekisa ku bino ensi Uganda

Submit Corrections