Kano ka ssaala
Oh na na na
Levixone one time
Mozeso
Audio One
Right Beats there
Oh there Paddy Man

Ggwe saba essaala
Essaala kuba ezaala
Ggwe saba essaala
Essaala kuba ezaala
Ggwe saba essaala
Essaala ezaala
Ggwe saba essaala
Essaala ezaala

Ono Sarah okumala emyaka yabulwa omwana
Ono Sarah yakaaba nnyo yabulwa omwana
Naye Sarah bwe yasaba yafuna omwana
Ssi ka myaka essaala eno ekuwa omwana
Ate ono Kaana
Kaana yasaba omwana
Bwe yasaba omwana
Omwana mu bulumi obungi
Kuyita mu ssaala
Mu ssaala mwe mwava Sam
Yesu ye ssaala
Bwe yasaba yamuwa Samwiri
Gundi saba nange
N’oli asabe n’oli
Gundi saba nange, eh

Ab’e Kosovo mwandabanga
Mu mbeera yange mwandabanga yeah yeah yeah
Nga ntoba sirina kya kulya
Nga nzungazunga sirina kya kunywa
Ono Yesu bw’omusaba ttakkoowa
Ttakkoowa, bwe namusabanga
Ezo ennyimba ze n’azimpa, oh na na
Okuganja Mukama ggwe n’okumpa, yeah yeah
Ekitiibwa nkikuwa Mukama, weebale
Ekitiibwa nkikuwa Mukama, wamponya
Pastor Bugembe ku street kwe yali atudde, yeah
Yasaba n’omuwulira
Essaala eyo n’ogiwulira
Yasaba n’omuwulira
Essaala eyo n’ogiwulira

Eno ye ssaala
Essaala ewonya ne kkansa
Yesu ye ssaala
Essaala ewonya siriimu
Yesu ye ssaala
Essaala, yeah eeh
Yesu ye ssaala
Essaala egaba oluzaalo
Yesu ye ssaala
Essaala egaba ne ssente

Oh na na
Oh na na
Oh na na

Egaba
Egaba byonna
Yeah yeah

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *