Saabisuubira Lyrics – Roden Y Kabako

Hullo, hullo
Ani ono?
Awu
Mugabe? Aah ah
Cooo
Bampita Kabakko
Another problem
Mu biseera bya future

Saabisuubira
Nti ndibirabako saabisuubira
Nze saabisuubira
Nti ndintuukayo eno saabisuubira
Saabisuubira
Nti ndibirabako saabisuubira
Nze saabisuubira
Nti ndintuukayo eno saabisuubira
Essimu tuzambala nga ssaawa
Tukuba ne mugyayita
Kati tuzambala nga ssaawa
Twogera n’abayita

Nfunye akasimu okuva wa Besigye
Nga kambuuza ku biseera by’omumaaso
Wangi Muzeeyi Besigye?
Ffe tuli eno tumansa ssente
Uganda yafuuka America
Tusula tudigida ffe tuli ku chart eno
Ogamba Kikoofiira?
Eyo nga twayitayo dda
Lukwago naye yafugako
Ne kiyuuga awo Mugisha n’akikwata
Kati tuli eno naye aliko wa ggume (wangi?)
Tayagala na linnya olyogere (wangi?)
Naye kasita tweyagala (oyogedde)
Ensimbi twazifuna
Ebyana byebyula
Ne siriimu twamuwona

Uganda yafuuka njiiya
Twayiiyizza ekyombo kipaakinga mu Lwera
Ennyonyi zaafuuka bugaali
Buli avubuka emmotoka ayigira ku Limousine
Okuva bwe twazuula gold
N’amafuta tulya nga baloodi
Abo ba Mbabazi baakivaamu dda
Bangi abakivaamu awo
Mowzey Radio yatuluma nnyo
Bbiri kkumi na munaana natuvaako
Weasel Manisal n’alemerako
Abaamujooga n’abalagako
Ojjukira Bobi Wine?
Mutabani we y’akulira amagye eno
Ogamba owa Chamili?
Oyo mutabbuliki
Grenade yatwala kawala ka Desire
Ssebo kaasikira ekitone
Kenzo akuliridde
Yazimba mu Angola eyo alunda nte (oyogedde)
Sheebah nga ssimuwulira
Alabika yafumbirwa
Mpozzi kano kawala ka Cindy
Kaakubye tune musigula nkonge (awu)
We bikiti bakita
Owe bikiti bakita
We bikiti bakita we bba (awu)
We bikiti bakita
Owe bikiti bakita
We bikiti bakita we bba (awu)
Raga atunyumira
Ebiwato tubinyoola
Black wadda wa? (owaaye)
Tuli eno twemiisa

Ggwe
Ebyo birooto
Olimba
Ebyo birooto
Olimba
Oli mu birooto
Olimba
Hahaha
Maama
Ndabiraako Tupac
Abo ba Pallaso baakivaamu dda
Bangi abakivaamu awo

Submit Corrections