Tuli waweeru
Tuli outside
Nyege-Nyege ejja genda mu maaso
Ogwo munanansi, munanansi
Kati ebigambo bimbuzeemu awo
Everybody say yeah
Kabaka Mwanga
You garrit?

Yong Jey

Nga bulijjo yenze wuuyo kantandike na kubeebaza
Guweddeko n’ate era ntuuse amatu go sembeza
Uganda tuggula amasomero omwaka gutandise
Officially, bazuukuke basome babadde beebase
Economy free opened tugenda bweru
Anti Ssangalyambogo atulangiridde tuli wabweru
Tusimbudde buli omu out ne bakifeesi
Bodaboda mmwe mulindeeko okujja mu race
Wulira enkaayana bo kafyu bakyalina
Kkumi na bbiri bweziwera kuweta busonda

Byantiisa e Nairobi wuuno Governor atugenzeeko
No more rumours Mutebile bambi atufuddeko
Ennyumba y’e Kololo nga ffe aba famire mugitulekere
Oba kale mutusondere ssente bambi mutuzimbire
Laba ate mu busonda bangi baabika Sipiika
Abanene bagambye mbu rumours za ba haters
Yagenda okujjanjjabwa mu chartered plane
Debate nezitandika eza ssente za plane
Byatabuka nnyo, byayingiramu tribalism
Nabbanja n’atugamba yafiira Seattle mu UK
Oulanya yafudde ki, organ failure?
Daddy ye alemeddeko butwa, mbu talina fear
Tugenze okumuziika Omoro tent ebuuka
Naffe abaali ku live twatya emitima negitutyemuka

Kakwenza, yafuluma ensi nga talina bisaanyinzo
Owa Greedy Barbarian yatulekera ebibuuzo
Passport baagiwamba naye era yagenda
Musajja wattu baamutulugunya n’ava e Uganda
Pinnet ku mmwanyi ne coffee agreement
Italian, mbu okusalawo kuvudde wa Pulezidenti
Debate mu Paaliyamenti who is she, she is who?
Efforts to reach her proved futile (goddamnit)
Range Rovers ezimu zibadde zibula
Martha Kay, bwetuyima waggulu otuyita cobra?
Oba bw’otulabako obuswiriri otuyita zebra?
Magogo wow birthday special
Sipiika so bright awesome nga espresso
Gift exchange love birds mwatulaze level
Ate nga n’ekikumba matching mwambala label
Ate nga n’ekikumba matching mwambala label

Nobert Mao kati aministeringa
Mbunno ye ne Musanvu kuva dda nga bachattinga
DP esigadde etya ffe anaatufuga atya, alekulire
Mugende muwaabe nze justice
Paaliyamenti y’e Bulaaya egambye nti tebagasima!
Okwonoona obutonde bw’ensi yammwe libeera ttima
Mwagaana n’okusasula abamu pipe weeyita
Tukombye kw’erima aba Total mulindeeko
Bitabuse mu E.A
Paaliyamenti etudde
Tujja gasima nga lwaki batugaana gaabwe?
Abeekalakaasa abasomi nebawerekerwa Poliisi
Abagamba tebagasima ate nebakwatibwa Poliisi!

Ssi batujju, naye ng’ekyokukaaba tusimbudde
Chris Evans sembera eno gw’alina ennene
Tuli awo, tulengera mpola zi birthday tour
Anaalonda General sembera omuceere tukuwa
Eno Twitter, weeks bbiri ku Nairobi
Taata wa General MK neyeetonda bambi
Nsereko, bill yiino
Bino si bya nseko
Computer Misuse Law omukono bagutaddeko
A person, shall not share the information
Which is likely to demean another person
Si byokka, eyo just nkuwadde example
Era waliwo n’abaakwatibwa ne bakola nga sample

General Elly Tumwine yafa aretirinze
Baasooka era kumubika nga bw’omanyi mu ŋŋambo
Confusion back again abakoowu b’olulango
Nebakomyawo zi speech ze ne bu quote mu bigambo
Abamu baajaganya twabalaba ku mutimbagano
Abamu ne baggyayo n’ennyimba ze nga Move On
Yadda ku butaka nga bamuggye ku Aga Khan
Nebakwata n’abo abagambibwa okukola fun

Omwaka gwajja n’ebirwadde ng’era bw’olabye ebola
Abasawo bafudde abalala bakyabanja musaala
Mubende, Kassanda baddayo mu lockdown
Donations abazungu ku luno baaziwa bitongole
Mu butongole, shots zo twafuna eza Covid
Gwebataagema, no access mu government office

Yiino BLQ football club scheme
Mbu oteekayo omutwalo n’ofuna kkumi
Ow’ekkumi ofuna abiri
Ow’akakadde oliira waggulu oba nga mpungu
Abaana baaziwangayo ssebo nga tebatubuusa
Kampuni bweyadduka nebakaaba netubuuka

COSASE, Senyonyi wuuno alemedde ku nnyonyi
Okunoonyereza kutandise tumanye ebikwate ku nnyonyi
Bamuturaki, Jenipher ebisanyizo mbu talina
Bibuuzo bingi mu kakiiko answer ezimu talina
Amazima mangi gaazuuka
Okulabisa kwasukka
Tulinze repercussions tutudde ku kakeeka

Nakakankaka, Sipapa mu kaduukulu lwa bubbi
Mulimu abaasoma, mukimanyi dollar efaanana byovu
Twasimba matooke kufuna lusuku lwa seminti
Netukungula binyaanya Suuna ne Mbaziira Sabula
Mu mwaka kyenfunyeemu kwe kuzaala omukaabi
Mu bika by’enjuki twegatte yenze work bee
Sumulula, Winnie Nwagi y’eyatubbako show
Abajja e Lugogo teri yalaba ku kundi sho
Omwaka gwa show na bitone
Levixone n’ekitone

Bobi nebamulemesa mu UAE okukola show ze
Anti evacuation
Ssente ezaali zijja ovvaamu, kuzza batuuze
Bannayuganda bangi baali nga bakonkomadde
Nga tebamanyi na kiddako bambi balinze kadde
Lulikya ddi, naffe kw’olwo tuddeko e Uganda
Bangi kubaafiirayo tebaabazza mu baŋŋanda

Doctor afukamira ne banne nti thank you
Tekyasanyusa kakiiko ka UMA step aside
Tusaasidde famire z’abaafiira ku Freedom City
Ssaako n’obubenje obungi Mukama saasira
Revenue, TIN Number zazzeeko ewaffe
Sponsoring ku Mehta wano osasula omusolo

Leero ndi beat professor munzikirize mbasiibule
Nafuuse muzadde omwana akaaba kammusirise
Tuliddamu, nga Kayz yeetonze kubyennyambala
Aggie Emiru yafuuse musama ebyaddala
Kambaleke, January wuuno kati muboneebone
Temwerabira okwambala nga mwesiye amagengere
Yong Jeh, beat weebale okugisalaasala
Tuve wano, amannya Nsubuga mpita sekawere

Yong Jeh

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *