Yes radio call point nine
Ali ku ssimu gamba hello
Hello, hello
Tukuwulira ssebo
Yes hello
Yes oli ku mpewo za radio yaffe ennungi
Yogerako naffe ssebo

Hello
Nsaba kutumirako naawe tongoba
Nasuze bubi ng’owange gwe ndowooza
Bino ebiwundu by’omutima ne bitonnya
Hmmm, nga gwe njagala gyali wala
Radio kansuubire agiwulira
Kwe nsinzidde okutumira
Ogenda n’olwayo gyoli eyo olimba
Ng’okimanyi ne bw’oba kumpi nkumissinga
(Ne bw’oba kumpi nze nfa)
Tobuuza kyali gyendi ekyo naawe kyeraga
Y’awummuza omutima munda agutabula
Kagiiko ka sukaali
Kuva ku ssomero nga twewala askari yeah yeah
Ye musawo w’omutima gwange oluusi takola
Mmulowoozaako ne bweba second
Antabula, owange antabula yeah ah

Nkutumidde
Gwe nasiima nkutumidde
Eno ewange ntambula butambuzi
Nga neerogoza wandalula
Simanyi oba alumwa
Nga gye ssiri eyo alumwa
Guno omutima gwajjulajjula biwundu
Ngusibya bikwanso

Nze naye twagabana musaayi
Nasuubiza kubaawo maaso ga Quran
Nalayira, I’ll give you love in a true form
Era me I pick your calls whenever you call
Alimmanja byatampola
Era yekka gwe mmanja naatasasula
Munda mu mutima ye ye counselor
Ntumira kuva wano Kampala
Nzuukuka na njala bwe muloota
Ng’agenze n’abo, aba Range Rover
Nga nafuye
Mwagala bi love mature
Mbiisana n’ebyomukwano gw’ewala
Nkumissinga love dear aura
Eno true love
Nkwagala bi love mature

Nkutumidde
Gwe nasiima nkutumidde
Eno ewange ntambula butambuzi
Nga neerogoza wandalula
Simanyi oba alumwa
Nga gye ssiri eyo alumwa
Guno omutima gwajjulajjula biwundu
Ngusibya bikwanso

Gwe nasiima nkutumidde
Eno ewange ntambula butambuzi
Nga neerogoza wandalula
Yonna gyoli nkugamba
Ne bw’oba oli Kigali, Rwanda
Jjukira eno ojje olabe
Nkwagala bi love mature

Kale ssebo nammwe mwebale kuweereza

Submit Corrections

7 thoughts on “Radio Call Lyrics – An-Known Prosper”
  1. This is really Soo touching. Am in love with this song
    It reminds me of love. Whenever I listen to this song bannange I don’t know but I calm down in an expected way. Thanks waiting for more

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *