Gwe kiki fuga olulimi lwo ojja kuntabangula
Kubanga byensirikidde nkumu, aah eeh yiii ooh
Obufumbo buno!
Okukula, wamma kwettira ddala

Bukya nkumaakuma nsi bonna beeremye
Angelo nduguddemu
Ekyama kye nali ŋumidde ne nkona
Bwe kyafuniseeko abakwata mu nsaka
Perugia onnanze ki ku myaka gye nina?
Bino bya kundozooleza
Ebintu ebinyuma okubuuzibwa nnyoko
Nze mbyanukule ntya atakyalina mbavu
Engeri gye ntaganjula obuzaale bwo
Ne nkikolera mu kunkazaakaza
Kale towemudde naye obisongako
Simanyi wayize okunywa amagengere?
Newankubadde waliwo nze byemmanyi
Byansukkirirako okuva olwo ne mbita
Ne nkwesonyiwa okukuwa erinnya ly’ekika
Naye nakikoza busungu na kujoogebwa

Nga Katonda ye muluŋŋamya mu bye nnyumya
Nkwetondera naye ojja kunjozaayoza
Wajja nga kyemeza okutuuka lw’okuze
Nze bino bwe mbimalayo ojja kwata emimwa
Nalwala ne nngya ntuuka okwesonyiwa nnyoko
Wabula nga ndi ku ndiri ye bwatyo n’asoba
Abakazi, abakwana bagira bakyabagwiranya!
Sso n’olubuto lwo yali alukuddemu
Ng’era ne mu ssanya yali agajambula
Ebintu byo biwanvu nalya n’obutwa
Ng’olwo ebikufaako mbinoonya mu nfumo
Nenkwetuumira Tebandiiko mu kimpukumpuku
Ng’olwo nnimbye nti Lubaale y’eyalintumye
Mukadde nsonyiwa okukuguyaaguya
Nze nakwola lwakuba obulamu mbwagala
Weesonyiwenga ebikusukkako
Ebikongo tebifumbibwa bbugubbugu
Tewettanira ebintu by’okuliimisa
Kubanga n’empisi ebiriira ku mbiro, eeeh
Tebandiiko nkwagala naye
Oyo akugambye bwe ssiri muzadde wo
Ye y’aba akulaga omutuufu gw’amanyi

Emikisa nsaba gibenga gyoli
Oganyire ddala okukira ku nze
Oyitimuke ensi ekuwaane
Ate oleme okwemanyanga
Emikisa nsaba gibenga gyoli
Oganyire ddala okukira ku nze
Oyitimuke ensi ekuwaane
Ate oleme okwemanyanga

Munnange wansanyusizza walyose n’osoma
Tebandiiko onooba wa ngeri ndala
Wasinze n’omusaayi gwange gwe nina
Bano nazaala mubbi
Wabula by’ombuuzizza eby’okulaga ekika
Ebyo bifuule bya mbwa kweresa nseko
Lwa nsonga maama wo amaze oziba omumwa
Nze naakugamba ki nga nange yankisa
N’abagaayi b’obugonja babinnangira
Mbu neesibye ku mwana w’abalangira
Ebintu by’ondabizza mu nsi bingi
Nze nafuuka muluutansozi
Walina n’ebimbe nga bitugumbula
Nga lwe biggalanjula mbinyeenyeza ndege
Byajjanga mu mwezi gwa kasambula
Naye nabigobya yirizi ya mpologoma
Nzenno gwe ndowoolezaamu okuba taata wo
Yavaako kuno ng’amaze okugwa eddalu
Takunsabangako mulundi n’ogumu
Nze ntandikira wa okukutwala ewuwe?
Nga n’okuzoola kwe nno biwanuuzibwa
Mbu ensonga ziva ku gwe mpitibwa aloga
Amasaŋanzira g’olimu bisaana Novena
Wuuyo ne maama wo omukka guweddemu
Wooweeee mwana wange olabye!

Omuguwa gute leka teweetuga
Naaziika ntya omwana ne nnyina olumu?
Olaba n’abalyake obwongo bwange
Be besunga lwendiziikibwa
Ebizibu bisanga bantu wandigumye bambi
Mmanyi obulumi bw’olimu
Ebyo bye tutera okulaba omuntu bw’okula
Munnange ensi ekuzingisa omufu
Tebandiiko kano akaseera k’olimu
Nze nteekeddwa okukukumaakuma
N’eŋambo nawulidde ziyitiŋana
Mbu mu mwezi ogujja olina okuyanjula
Naye bw’onodda mu kwerumaluma
Gwe mbuulira omulenzi wo omututte wa?
Gwe osuubira oluganda balupangisa?
Munnange ebintu by’obuwangwa bigoba nnono
Maama wo y’eyaleeta emigozoobano
Gwe nsaba weekuumire omusajja wo
Olukujjukujju lw’okukusa embugo
Abajjwa lwe lugenda obasubya emitwe
Ate n’ebyafaayo biddiriŋana
Ngya kutta n’eddoboozi tonswaza
Bw’olikola ebivve yonna gy’oyise
Ennyumba ya Sekandi erigeyengulwa
Munnange tolesanga muntu kya kulya
Enkerembe za balo zizo ddala ddala
Embuga z’ekiro okuziwaabangamu
Olyejjuukiriza omaze okukyayibwa
Okulimba kusaana olina bye weekeka
Sso okudduka akubanja kwekotoggera
Na buli akuwa amagezi mwewe
Naye osalengawo nga weerowooleza
Balo nebwalifuuka enkombajjovu
Tonobanga Perugia
Kiribeera kipya ki enkabagga z’olina
Aah gwe n’ajja akwefuulira
Ensi eyagalamu okulengera ewala
Mpolampola nga nange bwe ntera
Ssi buli bigumu nti byenkanankana
Nnyabo enkuzannyana ssi kalemanjovu

Emikisa nsaba gibenga gyoli
Oganyire ddala okukira ku nze
Oyitimuke ensi ekuwaane
Ate oleme okwemanyanga
Emikisa nsaba gibenga gyoli
Oganyire ddala okukira ku nze
Oyitimuke ensi ekuwaane
Ate oleme okwemanyanga

Ku bwino gw’omaze okuteeka mu jjoba
Nkwongerezzaako enkumbi ne najjolo
Nkuwadde nakakusu olundangako
Teweenyinyala obwavu bubonyaabonya
Ekikumpeesezza obukeedo n’enjulu
Esaaniikwa bulijjo esooka ssibwa
Eby’obuwangwa bwa wano bikuume
Balo tebamufumbira jjagajjaga
Kabaka n’ensi yo tobiryangamu olukwe
Sso n’olulimi lwo kikulu gyoli
Eby’obufuzi bya wano nze byannyiwa
Obiyingiriranga omanyi nkulaamira
Tewekkiriranyanga naye obanga n’obusaasizi
Okusirika kimu ku by’okulwanisa
Obanga n’ensonyi mu bulamu bwo
Lw’oliyawula ekirungi n’ekibi
Engalo mw’okulidde y’enju y’ababo
Ne mu ddaame lyange nakuteekamu
Nebwendifa alikuboola tulirerembuka
Emisambwa gikunkuumire
Ebyama byo mu nsi eno bwe bugagga bwo
Era nze ne baganda bo mbakuutira
Nti tebagezanga okubonyaabonya
Teri alina plan ku buzaale bwe
Kino okibuuza ne Obama

Nnyabo teweganyanga n’okulusana
Amazima bulijjo ogakulembeza
Obanga muntumulamu nga bwendi
Opimanga ebikuvaamu biggeyenguza
Tokulembeza empalana n’okuwoolera
Ekisa n’ettima ebyo byagala ppima
Nga n’ekikulu kya byonna
Otyanga nnyo Katonda wo
Okusobola naye okukukulembera

Emikisa nsaba gibenga gyoli
Oganyire ddala okukira ku nze
Oyitimuke ensi ekuwaane
Ate oleme okwemanyanga
Repeat till fade

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *