People Power Anthem Lyrics – Victor Kamenyo

Iyooo Kyagulanyi
Iyooo Kyagulanyi

Sign for the power and for the people’s power
Iyooo Kyagulanyi
Situka yimirira
Iyooo Kyagulanyi
Obudde bwa kinnyika ggobe
Oli savior, oli hero, oli soldier
Akalimi k’essaawa kalabika katwongera mu kufa
Gira otutaase ffe abaana ba kuno
Tubbulule tugenda kubbira mu musaayi
Oli savior, oli hero, oli soldier
Tulwanirire ffe abatalina bya kulwanyisa
Gira otutaase ffe abaana ba kuno
Emitima gy’abangi gitandise okunafuwa
Iyooo Kyagulanyi
Kano ke kaseera bambi totuvaamu
Iyooo Kyagulanyi

Abaana baffe basigaddewo ku lw’ani?
Iyooo Kyagulanyi
Kyagulanyi! Yamba yamba
Iyooo Kyagulanyi
Ensi efuuse matongo
Oli savior, oli hero, oli soldier
Emigga gy’omusaayi gw’abatalina musango gikulukuta
Gira otutaase ffe abaana ba kuno
Ekitangaala ky’ensi yaffe kyaggwawo
Oli savior, oli hero, oli soldier
Ku lw’amaanyi ga ba musibiramubbwa
Gira otutaase ffe abaana ba kuno

Emimwa gyaffe baagisiba tetwogera
Iyooo Kyagulanyi
Emmundu mu mikono gyabwe
Iyooo Kyagulanyi
Wabula omuliro mu mitima gyaffe
Iyooo Kyagulanyi
Emimwa gyaffe baagisiba tetwogera
Iyooo Kyagulanyi
Tetukyalaba amaaso baagatundula
Oli savior, oli hero, oli soldier
Tetutambula amagulu baagalemaza
Gira otutaase ffe abaana ba kuno
Kyagulanyi
Oli savior, oli hero, oli soldier
Gira otutaase ffe abaana ba kuno
Iyee yee yeah
Iyooo Kyagulanyi

Enjegere z’obukyayi mu bulago
Iyooo Kyagulanyi
Abamu bali mu lusuku baasukka Mulago
Iyooo Kyagulanyi
Teri ggulu wansi mu ttaka
Iyooo Kyagulanyi
Teri anoonya bulamu mu ntaana
Oli savior, oli hero, oli soldier
Wangaala ettaka ly’ensi yange
Gira otutaase ffe abaana ba kuno
Fukirirwa nkuba ssi musaayi gw’abaana bo
Oli savior, oli hero, oli soldier

Wangaala eggwanga lyange
Gira otutaase ffe abaana ba kuno
Wangaala ensi yange
Iyooo Kyagulanyi
Wangaala abantu bange
Iyooo Kyagulanyi
Iyooo Kyagulanyi

Wangaala Uganda
Iyooo Kyagulanyi
Wangaala Victor Kamenyo
Iyooo Kyagulanyi
Wangaala ayi Ssaabasajja
Iyooo Kyagulanyi
Wangaala Kyagulanyi Bobi Wine Sentamu
Oli savior, oli hero, oli soldier
Gira otutaase ffe abaana ba kuno

Iyee yee yeah
Gira otutaase ffe abaana ba kuno
Victor Kamenyo
Oli savior, oli hero, oli soldier
Gira otutaase ffe abaana ba kuno

Yerere maama
Yerere yerere maama we
yerere maama we
Yerere yerere yerere yerere eeh eh
Yerere yerere yerere yerere eeh eh

Submit Corrections