Okuzannyisa omukka n’ogudingisanga
Kye bayita okuyimba sso ssi kkerere ezo
Kwe nava n’abaali bangoba basajja battu
Nabalekera ssaati nga nze neemakudde
Abaakolagananga n’abalabe bange
Saabanenya abo y’eyali endowooza yaabwe
Mbajjukira emiranga gyebesuuliranga
Ne nzijukira n’ebibindi bye banfuuyiranga
Bwe bagamba nti tebantya mba nange be ntya
Nkomyewo bazannya n’engo Matthias
Wadde amazima ku bamu gakaawa
Ate okugaasanguza ke kazannyo kange
Kayimba kammwe ababaka ba paalamenti
Ndibeetondera ndibeera mbetaaze
Mukimanyi bulungi nti ffe twabalonda
Okugenda mututuusize obubaka
N’abamu mugaawalahi mwali mpungabyoya
Ne tubeera nga twakikola kubayamba
Abandi twabalonda lwa njogera zammwe
Ne bye mwatusuubiza bwe muliba mutuuse
Newuunya abamu okuva lwe twabalonda
Mwatufuula biyenje eno mwatufiisa
Ffe tubalinze mukomewo mu biyenje byammwe
Musukkanga ku bbiri ne mwesiba ssatu olwo
Obukongovvule bube bweteefuteefu
N’enkalu kw’olwo bwe zirijja okubunoonya
Enzige n’ejjanzi lwe biriteesa bibuuke
Lw’olisanga ne Obote ng’akomyewo afuga ensi
Nga bw’atayinza kudda nammwe temuddanga
Abantu banyiivu mwaba dissapointinga
Kibojjera ku lwazi era zireese
Ndagala bwe ndibeera nga nzaaye mulikomba

Kitalo nnyo nnyo paalamenti yaffe
Okwefuula abatuuse ebbugga embooge musuule
Tetubasindikangako mu paalamenti
Nti bwe mutuuka mutuyamba mwekkiririranyenga
Ekyakusindisa otuule mu paalamenti
Gwe ate olikomawo nga ky’otugamba kyeki?
Naawe ataalina kye wateesa kyonna
Eby’ekisanja ekirala wamma totawaana
N’abaazinira ku ntoli z’omuntu omu
Mmwe muyitiranga eyo nga balongoose
Ne gwe bateegereera mu paalamenti
Gwe onenyanga mutwe gwo gwe gwakusuula
Nga bye wateesa ne banno wefuulafuula
Emisito gy’embuzi gwe gy’egiriddamu okulonda
Kitalo paalamenti yaffe
Abantu banyiivu mwaba dissapointinga
Muwemukidde e Bunyoro ababaka baffe
Mwafaananye ng’e Buganda abatalidda
Abalala mulinga abagezaako okutugamba
Ntinno bu chai bw’embuga bwe bw’abalonda
Mwesibye ebisenso by’enku eri mutyabula
Muli ku misito gy’embuzi egiboogeza oludicha
Ng’osaba akalulu wajja bwa ppeke oti
Ki ogenda n’ekyabangi mu paalamenti?
Teri ava ku mulamwa n’asigala waggulu
Ne be ssiyogedde ky’ekyabasuula
Abaatulugunyiziddwa ku lwaffe nemutakyuka
Mwebale mwafaananye Yesu eyafiirira ensi
Eyalemwa okuwagira n’ojja owagira ensobi
Kiri mu lwatu nti watunda baakulonda
Ennyonyi ekigibuusa egende mu bwengula
Mpaawo kuwannaanya ky’ekigizza wansi

Mutuliddemu olukwe ebiyenje byammwe
Kaamungolo
Muli ku ntoli z’abo abataabalonda
Kaamungolo
Enkola ya kiryanguzi bubakeeredde
Kaamungolo
Kasita okalya dda kye manyi kadda dda
Kaamungolo
Akavuyo ke mwenyigiddemu bwe kalikaawa
Kaamungolo
Nze ndigenda n’ensawo yange
Kaamungolo
Mutuliddemu olukwe ebiyenje byammwe
Kaamungolo
Muli ku ntoli z’abo abataabalonda
Kaamungolo
Enkola ya kiryanguzi bubakeeredde
Kaamungolo
Kasita okalya dda kye manyi kadda dda
Kaamungolo
Akavuyo ke mwenyigiddemu bwe kalikaawa
Kaamungolo
Nze ndigenda n’ensawo yange
Kaamungolo

Okuwangaala okungi kunnyambye mu nsi
Waliwo ebintu bye ndaba ebitaalisaanye
Bwe bibeera nga by’ebituufu Matthias
Awo nze mbeera natandise obutategeera
Ow’Oluzungu n’amanyi okuteesa bombi
Ani y’alisaanye ogenda mu paalamenti
Tusindika nnyo abantu mu paalamenti
Olw’okuba amaze siniya ey’omukaaga woo!
Okugenda okuteeseza eggwanga tufudde
Sso nga ne mu lukiiko lw’ekika teyaalisaanye
Mwemuli n’abatamanyi signature zaabwe
Ebisesa biri mu paalamenti yaffe
Bo bennyini nga balonda Sipiika waabwe
Mulimu obululu obwazuulwa obufu kiswaza!
Njagala nnyo okay y’endowooza yange
Paalamenti efaanane kkooti zaffe
Olulimi omubaka lwatanaananaana
Mw’aba ateeseza ekyo kijja kutuyamba
Ewandiike n’ennimi azitapputanga
Omungereza gw’ayita interpreter
Olwo n’abataasoma bajje mu paalamenti
Kasita tuzuula nti ebiteeso bye bizimba
Abaakola etteeka erya atasomye takiika
Bbo baalowooza ku luzungu wattu lwokka
Oluzungu ndumanyi ng’olulimi lwonna
Okutegeera n’okuteesa biba mu gwe muntu
Issa Masiya ne Kristu bombi
Tubajjukira olw’ebyewuunyo gye baasoma wa?
Abachina abatamanyi Luzungu wadde
Wano buli maka mufumbekedde bintu byabwe
Bo bennyini abatamanyi because wadde
Be baatukolera n’essimu ezirina internet
N’atasomye agibikkula mu phonebook
N’aba diguli bazitinkuula Facebook
Okubeera omuddugavu ssikyevumanga
Ŋenda mu bazungu ne banninda ku Airport
Mwebaze maama ne taata abanteekateeka
Empisa ennungi ssaako okwagala eggwanga lyange
Singa bandeka ne ngya nsamaala mu nsi
Osanga nandibadde bampumiza na dda
Mbadde Matthias oba Mr. Paalamenti
Omuteesa akira abalya siringi zammwe
Ebyange bwebityo ndeka mutenda
Ekika ky’obwongo ng’ate saasoma nnyo
Ondabiranga ddala Sebuufu bwa ngo
Ssebunnya bwa ssota ayi Bbeene Cuucu

Mutuliddemu olukwe ebiyenje byammwe
Kaamungolo
Muli ku ntoli z’abo abataabalonda
Kaamungolo
Enkola ya kiryanguzi bubakeeredde
Kaamungolo
Kasita okalya dda kye manyi kadda dda
Kaamungolo
Akavuyo ke mwenyigiddemu bwe kalikaawa
Kaamungolo
Nze ndigenda n’ensawo yange
Kaamungolo
Mutuliddemu olukwe ebiyenje byammwe
Kaamungolo
Muli ku ntoli z’abo abataabalonda
Kaamungolo
Enkola ya kiryanguzi bubakeeredde
Kaamungolo
Kasita okalya dda kye manyi kadda dda
Kaamungolo
Akavuyo ke mwenyigiddemu bwe kalikaawa
Kaamungolo
Nze ndigenda n’ensawo yange
Kaamungolo

Submit Corrections

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *